Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Micah 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the last days the mountain where our Father's house stands will be firmly established as the highest of the mountains, lifted high above the hills, and peoples will stream to it. Mu nnaku ez’oluvannyuma olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa okusinga ensozi zonna; lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi, era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
2 Many nations will come and say, "Come, let us go up to the mountain of our Father, to the house of the God of Jacob, that he may teach us his ways and we may walk in his paths." For instruction will go out from Zion, and the word of our Father from Jerusalem. Amawanga mangi galiragayo ne googera nti, “Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo. Alituyigiriza by’ayagala tulyoke tutambulire mu makubo ge.” Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye, n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
3 He will judge between many peoples and settle disputes for strong nations far away. They will beat their swords into plowshares and their spears into pruning hooks; nation will not lift up sword against nation, nor will they train for war anymore. Aliramula amawanga atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala. Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi, n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
4 Each will sit under his own vine and under his own fig tree, and no one will make them afraid, for the Father of heaven's armies himself has spoken. Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe ne mu mutiini gwe. Tewalibaawo abatiisa kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.
5 For all the peoples walk in the name of their own god, but we will walk in the name of our Father forever and ever. Newaakubadde nga amawanga gonna galigoberera bakatonda baago, naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.
6 In that day, declares our Father, I will gather the lame and bring together the outcast, those whom I have afflicted. “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “Ndikuŋŋaanya abalema, n’abo abaawaŋŋangusibwa n’abo abali mu nnaku.
7 I will make the lame into a remnant, and those driven far away into a strong nation, and our Father will reign over them on Mount Zion from now on and forever. Abalema ndibafuula abalonde, n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi. Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
8 And you, tower of the flock, hill of the daughter of Zion, to you it will come—the former dominion will return, the kingdom of the daughter of Jerusalem. Ggwe omunaala oguyimirirwamu okulabirira endiga, ggwe ekigo eky’amaanyi ekya Muwala wa Sayuuni, ekitiibwa kyo eky’edda kirikuddira, n’obwakabaka ne bukomawo eri Muwala wa Sayuuni.”
9 Now why do you cry aloud? Is there no king among you? Has your counselor perished, that pain has seized you like a woman in labor? Naye kaakano kiki ekibakaabya ennyo bwe mutyo? Temulina kabaka abakulembera? Omuwi w’amagezi wammwe yafa, ennaku eryoke ebakwate ng’omukazi alumwa okuzaala?
10 Writhe and groan, daughter of Zion, like a woman in labor, for now you will go out from the city and live in the open field; you will go to Babylon. There you will be rescued; there our Father will redeem you from the hand of your enemies. Lumwa, weenyoole ggwe Omuwala wa Sayuuni ng’omukazi alumwa okuzaala. Kubanga kaakano oteekwa okuva mu kibuga ogende obeere ku ttale. Mulitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, era eyo gye ndibalokolera. Ndibanunulira eyo okuva mu mukono gw’omulabe.
11 Now many nations are gathered against you, saying, "Let her be defiled, and let our eyes gloat over Zion." Kyokka kaakano amawanga mangi gakuŋŋaanye okubalwanyisa. Boogera nti, Ayonoonebwe, n’amaaso gaffe geelolere Sayuuni.
12 But they do not know the thoughts of our Father; they do not understand his plan, that he has gathered them like sheaves to the threshing floor. Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; tebategeera kuteesa kwe; oyo akuŋŋaanya abalabe be ng’ebinywa by’eŋŋaano bwe bikuŋŋaanyizibwa mu gguuliro.
13 Arise and thresh, daughter of Zion, for I will make your horn iron and your hooves bronze; you will crush many peoples, and you will devote their gain to our Father, their wealth to the Sovereign of all the earth. “Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni, kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma; ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo era olibetenta amawanga mangi.” Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama, n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]