Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Micah 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Marshal your forces, daughter of troops! A siege has been laid against us. With a rod they strike the judge of Israel on the cheek. Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye, kubanga tulumbiddwa. Omukulembeze wa Isirayiri balimukuba omuggo ku luba.
2 But you, Bethlehem Ephrathah, though you are small among the clans of Judah, from you will come forth for me one who will be ruler over Israel, whose origins are from ancient times, from the days of eternity. “Naye ggwe Besirekemu Efulasa, newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe muliva alibeera omufuzi wange mu Isirayiri. Oyo yaliwo okuva edda n’edda, ng’ensi tennabaawo.”
3 Therefore he will give them up until the time when the woman in labor has given birth; then the rest of his brothers will return to the people of Israel. Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana, era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo eri bannaabwe mu Isirayiri.
4 And he will stand and shepherd his flock in the strength of our Father, in the majesty of the name of his Father. And they will live in safety, for now he will be great to the ends of the earth. Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we. Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu okutuusa ku nkomerero y’ensi.
5 And he himself will be our peace. When Assyria comes into our land and treads on our fortresses, then we will raise against him seven shepherds and eight leaders of men. Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe. Omwasuli bw’alirumba ensi yaffe n’abuna ebigo byaffe, tulimuyimbulira abasumba musanvu, n’abakulembeze munaana.
6 They will shepherd the land of Assyria with the sword, and the land of Nimrod at its entrances. And the ruler will deliver us from Assyria when it comes into our land and treads within our borders. Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone. Naye alitulokola eri Omwasuli bw’alitulumba mu nsi yaffe era bw’aliyingira mu nsalo zaffe.
7 Then the remnant of Jacob will be in the midst of many peoples like dew from our Father, like showers on the grass, which do not wait for anyone or delay for any person. Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeera wakati mu mawanga agabeetoolodde, babe ng’omusulo oguva eri Mukama, ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddo obutalindirira muntu oba abaana b’abantu.
8 And Jacob's remnant will live among the nations, surrounded by many peoples—like a lion among the wild animals of the forest, like a young lion prowling among flocks of sheep, which, when it passes through, tramples and tears, and no one can rescue. Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko, abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde; ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga, bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagula ne wataba n’omu aziwonya.
9 Your hand will be lifted up over your adversaries, and all your enemies will be cut off. Omukono gwo guliwangula abalabe bo, ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.
10 And in that day, declares our Father, I will cut off your horses from among you and destroy your chariots. “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama, “Ndizikiriza embalaasi zo ne nsanyaawo n’amagaali go.
11 I will cut off the cities of your land and tear down all your strongholds. Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yo era mmenyemenye n’ebigo byo byonna.
12 I will cut off sorceries from your hand, and you will have no more fortune-tellers. Obulogo bwo ndibumalawo era toliddayo kukolima nate.
13 I will cut off your carved images and your sacred pillars from among you, and you will no longer bow down to the work of your hands. N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza. Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga; temuliddayo nate kuvuunamira bakatonda be mwekoledde n’emikono gyammwe.
14 I will uproot your Asherah poles from among you and demolish your cities. Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe, ebibuga byammwe n’embizikiriza.
15 And in anger and fury I will bring judgment on the nations that did not obey. Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedde n’obusungu n’ekiruyi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]