Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Micah 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hear what our Father says: Stand, plead your case before the mountains; let the hills hear your voice. Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti, “Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi, n’obusozi buwulire bye mugamba.
2 Listen, mountains, to our Father's case, and you lasting foundations of the earth; for our Father has a case against his people, and he will contend with Israel. “Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana; nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire. Mukama alina ensonga ku bantu be era agenda kuwawabira Isirayiri.
3 My children, what have I done to you? How have I wearied you? Answer me! “Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze? Nnali mbazitooweredde? Munziremu.
4 For I brought you up from the land of Egypt and redeemed you from the house of slavery; I sent before you Moses, Aaron, and Miriam. Nabaggya mu nsi ye Misiri ne mbanunula mu nsi ey’obuddu, ne mbawa Musa, ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.
5 My children, remember what Balak king of Moab planned, and what Balaam son of Beor answered him, from Shittim to Gilgal, so you will know the righteous acts of your Father. Mmwe abantu bange mujjukire ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera. Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”
6 What should I bring when I come before our Father? How should I bow before our Father on high? Will I come to him with burnt offerings, with year-old calves? Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa? Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
7 Will our Father be pleased with thousands of rams, with 10,000 rivers of oil? Will I give my firstborn for my rebellion, the child of my own body for the sin of my soul? Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi, oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta? Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange, nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
8 He has told you what is good; and what does our Father require of you but to do justice, to love kindness, and to walk humbly with your Father? Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
9 The voice of our Father calls to the city—and it is sound wisdom to fear your name—"Listen, tribe, and the one who appointed it! Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka. “Kya magezi ddala okutya erinnya lye, n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.
10 Are there still treasures of wickedness in the house of the wicked, and the accursed short measure? Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira, mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu, erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?
11 Will I declare innocent the one with dishonest scales, with a bag of deceitful weights? Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse, alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?
12 Your rich men are full of violence, your inhabitants speak lies, and their tongues are full of deceit. Abagagga baakyo bakambwe n’abatuuze baamu balimba n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.
13 So I myself have begun to strike you, making you desolate because of your sins. Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza, nkumalewo olw’ebibi byo.
14 You will eat but not be satisfied, and your hunger will stay within you; you will store up but not save, and what you save I will give over to the sword. Onoolyanga, naye n’otokutta, era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja. Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.
15 You will sow but not reap; you will press olives but have no oil to use, and press the grapes but not drink the wine. Olisiga naye tolikungula, oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako, olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.
16 For you have kept the statutes of Omri and all the works of the house of Ahab, and you have followed their ways; so I will make you a desolation and your inhabitants a mockery, and you will bear the scorn of my children." Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu n’ogoberera n’emizizo gyabwe, kyendiva nkufuula ekifulukwa, n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa era olibaako ekivume ky’amawanga.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]