Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Micah 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 How miserable I am! I am like someone who gathers summer fruit, like one who gleans the vineyard after harvest: there is no cluster to eat, no early fig I long for. Ddala zinsanze nze. Ndi ng’omuntu akungula ebibala okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu; tewali kirimba kya mizabbibu kulyako, wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
2 The faithful have vanished from the land, and there is no one upright among the people; they all lie in wait for blood, each hunting his brother with a net. Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi; tewali n’omu mulongoofu asigaddewo. Bonna banoonya okuyiwa omusaayi, buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
3 Their hands are skilled at evil: the official demands a bribe, the judge accepts a payoff, and the powerful dictate what they want—and so they all conspire together. Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi; omufuzi asaba ebirabo, n’omulamuzi alya enguzi, n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala nga basala enkwe.
4 The best of them is like a brier, the most upright worse than a thorn hedge. The day your watchmen warned of, the day of your reckoning, has come; now their confusion is near. Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo; asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi. Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse, era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
5 Put no trust in a neighbor; have no confidence in a close friend; guard what you say even to the one who lies in your arms. Tewesiga muntu n’omu, wadde mukwano gwo, newaakubadde mukazi wo, Weegendereze by’oyogera.
6 For the son treats the father with contempt, the daughter rises against her mother, the daughter-in-law against her mother-in-law; a person's enemies are the members of his own household. Kubanga omulenzi agaya kitaawe, n’omwana alwanyisa nnyina, muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we. Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.
7 But as for me, I will watch for our Father; I will wait for the Father who saves me; my Father will hear me. Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi, nnindirira Katonda Omulokozi wange; Katonda wange anampulira.
8 Do not gloat over me, my enemy! Though I have fallen, I will rise; though I sit in darkness, our Father will be my light. Tonjeeyereza ggwe omulabe wange, kubanga wadde ngudde, nnaayimuka. Ne bwe naatuula mu kizikiza, Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
9 I will bear the indignation of our Father, because I have sinned against him, until he takes up my case and brings me justice. He will bring me out into the light, and I will see his vindication. Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza, kubanga nnyonoonye mu maaso ge, okutuusa lw’alimpolereza, n’anziza buggya. Alindeeta mu kitangaala, era ndiraba obutuukirivu bwe.
10 Then my enemy will see it and be covered with shame, she who said to me, "Where is the LORD your God?" My eyes will look on her; now she will be trampled down like mud in the streets. Olwo omulabe wange alikiraba, n’aswala, oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti, “Ali ludda wa Mukama Katonda wo?” Ndisanyuka ng’agudde, era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
11 The day for rebuilding your walls will come, the day your boundaries will be extended far and wide. Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka, olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
12 In that day they will come to you from Assyria and the cities of Egypt, from Egypt to the River, from sea to sea and mountain to mountain. Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri, n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati, n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala, n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
13 But the earth will become desolate because of those who live in it, as the fruit of their deeds. Ensi erifuuka matongo, olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.
14 Shepherd your people with your staff, the flock of your inheritance, who live alone in a forest in the midst of fertile pasture. Let them graze in Bashan and Gilead as they did long ago. Lunda abantu bo n’omuggo gwo, ekisibo kye weeroboza, ababeera bokka mu kibira mu malundiro amagimu. Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.
15 As in the days when you came out of the land of Egypt, I will show them wonders. Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri, nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.
16 The nations will see and be ashamed of all their might; they will put their hands over their mouths, and their ears will go deaf. Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi, ne gamalibwamu amaanyi. Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe n’amatu gaabwe ne gaziba.
17 They will lick the dust like a serpent, like creatures that crawl on the ground. They will come trembling from their strongholds; they will turn to our Father in dread, and they will be afraid of you. Balirya enfuufu ng’omusota, ng’ebisolo ebyewalula. Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
18 Who is like our Father, who pardons sin and passes over the rebellion of the remnant of his inheritance? He does not hold on to his anger forever, because his heart delights in covenant love. Katonda ki omulala ali nga ggwe, asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo abaasigalawo ku bantu be? Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, naye asanyukira okusaasira.
19 He will again have compassion on us; he will tread our wrongdoing underfoot. You will hurl all our sins into the depths of the sea. Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe, n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
20 You will be faithful to Jacob and show covenant love to Abraham, as you swore to our ancestors long ago. Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo, n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu, nga bwe weeyama eri bajjajjaffe okuva mu nnaku ez’edda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]