Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jonah 4 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Obusungu bwa Yona n’Ekisa Kya Katonda

1Naye Yona n’anyiiga nnyo. 2N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano. 3Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu.”

4Awo Mukama n’agamba nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga?”

5Awo Yona n’afuluma ebweru w’ekibuga n’abeera ku luuyi lwakyo olw’ebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, n’alinda alabe ekinatuuka ku kibuga. 6Ebikoola by’akasiisira bwe by’awotoka olw’omusana, Mukama Katonda n’ategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo. 7Naye ate enkeera Katonda n’aleeta ekiwuka, ne kirya ekiryo ne kikala ne kifa. 8Ng’enjuba yeewanise, Katonda n’alyoka alagira embuyaga ey’Ebuvanjuba ey’olubugumu okufuuwa Yona, omusana ne gumwokya nnyo mu mutwe okutuusa lwe yazirika. N’ayagala afe. N’ayogera nti, “Okufa kusinga okuba omulamu.”

9Mukama n’alyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga olw’ekiryo ekikaze ne kifa?” Yona n’addamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo n’okwegomba okufa.”

10Mukama n’amugamba nti, “Osaalirwa olw’ekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera. 11Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]