Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 146 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

1Tendereza Mukama!Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

2Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.

3Teweesiganga bafuzi,wadde abantu obuntu omutali buyambi.

4Kubanga bafa ne bakka emagombe;ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.

5Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,

6eyakola eggulu n’ensin’ennyanja ne byonna ebirimu,era omwesigwa emirembe gyonna.

7Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.Mukama asumulula abasibe.

8Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,era awanirira abazitoowereddwa.Mukama ayagala abatuukirivu.

9Mukama alabirira bannamawanga,era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10Mukama anaafuganga emirembe gyonna,Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.Mutendereze Mukama!

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]