Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Whoever isolates himself pursues his own desire; he lashes out against all sound wisdom. Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka, era tawuliriza magezi gamuweebwa.
2 A fool takes no pleasure in understanding, but only in airing his own opinions. Omusirusiru tasanyukira kutegeera, ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.
3 When wickedness comes, contempt comes too, and with dishonor comes reproach. Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako, era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.
4 The words of a person's mouth are deep waters; the fountain of wisdom is a flowing stream. Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba, naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.
5 It is not good to show partiality to the wicked, denying justice to the righteous. Si kirungi kuttira mubi ku liiso, oba okusaliriza omutuukirivu.
6 A fool's lips bring strife, and his mouth invites a beating. Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.
7 A fool's mouth is his ruin, and his lips are a snare to his soul. Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira, era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.
8 The words of a gossip are like choice morsels; they go down into the inmost being. Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera, bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
9 Whoever is slack in his work is brother to one who destroys. Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola, waluganda n’oyo azikiriza.
10 The name of our Father is a strong tower; the righteous runs into it and is safe. Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi, omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.
11 A rich man's wealth is his fortified city; in his imagination it is like a high wall. Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi, era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.
12 Before destruction the human heart is proud, but humility comes before honor. Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
13 If one answers before he listens, it is his foolishness and his shame. Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza, buba busirusiru bwe era buswavu.
14 A person's spirit can sustain him through sickness, but a crushed spirit—who can bear it? Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde, naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?
15 The discerning heart acquires knowledge, and the ear of the wise seeks it out. Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya, amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.
16 A person's gift opens the way for him and brings him before important people. Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza, era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.
17 The first to state his case seems right, until another comes and examines him. Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu, okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.
18 Casting the lot settles disputes and separates strong opponents. Okukuba akalulu kimalawo empaka, era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.
19 An offended brother is harder to win than a fortified city, and disputes are like the bars of a fortress. Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize, era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.
20 From the fruit of a person's mouth his stomach is satisfied; with the yield of his lips he is filled. Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke; ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.
21 Death and life are in the power of the tongue, and those who love it will eat its fruit. Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
22 He who finds a wife finds what is good and receives favor from our Father. Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi, era aganja eri Mukama.
23 The poor person pleads for mercy, but the rich answers harshly. Omwavu yeegayirira, naye omugagga addamu na bbogo.
24 A man of many companions may come to ruin, but there is a friend who sticks closer than a brother. Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira, naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]