Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Better is a poor person who walks in his integrity than one whose words are crooked and is a fool. Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.
2 Also, desire without knowledge is not good, and whoever acts in haste misses the way. Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya, n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.
3 A person's own foolishness ruins his way, yet his heart rages against our Father. Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe, kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.
4 Wealth adds many friends, but the poor is separated from his friend. Obugagga buleeta emikwano mingi, naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.
5 A false witness will not go unpunished, and one who breathes out lies will not escape. Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa, era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.
6 Many seek the favor of a generous person, and everyone is a friend to one who gives gifts. Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi, era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.
7 All the brothers of a poor person hate him; how much more do his friends keep far from him! He calls after them, but they are gone. Baganda b’omwavu bonna bamwewala, mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala? Wadde abagoberera ng’abeegayirira, naye tabalaba.
8 Whoever gets wisdom loves his own soul; whoever guards understanding will find good. Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye, n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.
9 A false witness will not go unpunished, and one who breathes out lies will perish. Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa, n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.
10 Luxury is not fitting for a fool—much less for a servant to rule over princes. Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya, kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?
11 The good sense of a person makes him slow to anger, and it is his glory to overlook an offense. Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.
12 A king's wrath is like the roaring of a lion, but his favor is like dew on the grass. Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma, naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.
13 A foolish son is ruin to his father, and a wife's quarreling is a continual dripping. Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira, n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.
14 House and wealth are an inheritance from one's ancestors, but a prudent wife is from our Father. Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde, naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
15 Laziness casts into deep sleep, and an idle person will go hungry. Obugayaavu buleeta otulo tungi, n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.
16 Whoever keeps the commandment keeps his life; whoever despises his ways will die. Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe, naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.
17 Whoever is generous to the poor lends to our Father, and our Father will repay him for his deed. Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.
18 Discipline your son while there is hope, and do not set your heart on his destruction. Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi, oleme kumuwaayo mu kuzikirira.
19 A person of great wrath must pay the penalty; for if you rescue him, you will only have to do it again. Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe, kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.
20 Listen to counsel and accept discipline, that you may gain wisdom in the days to come. Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa, oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.
21 Many are the plans in a person's heart, but it is the counsel of our Father that will stand. Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe; byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.
22 What is desired in a person is covenant love, and a poor person is better than a liar. Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo, okuba omwavu kisinga okuba omulimba.
23 The fear of our Father leads to life, and whoever has it rests satisfied, untouched by harm. Okutya Mukama kutuusa mu bulamu; olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.
24 The sluggard buries his hand in the dish and will not even bring it back to his mouth. Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.
25 Strike a mocker, and the simple will learn prudence; reprove a person of understanding, and he will gain knowledge. Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye, buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.
26 Whoever does violence to his father and drives away his mother is a son who brings shame and disgrace. Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina, aleeta obuswavu n’obuyinike.
27 Stop listening to instruction, my son, and you will stray from the words of knowledge. Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa, onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya.
28 A worthless witness mocks at justice, and the mouth of the wicked gulps down wickedness. Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima, n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.
29 Punishment is prepared for mockers, and beatings for the backs of fools. Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi, n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]