Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Wine is a mocker, strong drink a brawler, and whoever staggers under it is not wise. Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi, era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.
2 The terror of a king is like the growl of a lion; whoever provokes him to anger forfeits his own life. Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma, n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.
3 It is an honor for a person to keep clear of strife, but every fool is quick to quarrel. Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo, naye buli musirusiru ayagala okuyomba.
4 A lazy person will not plow in autumn; so at harvest he looks for a crop and finds nothing. Omugayaavu talima mu budde butuufu, kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.
5 The purposes of a person's heart are deep waters, but one who has understanding draws them out. Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba, naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.
6 Many a person proclaims his own loyal love, but a faithful one—who can find? Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo, naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?
7 The righteous walk in their integrity; blessed are their children after them! Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa; ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.
8 A king seated on the throne of judgment winnows out all evil with his eyes. Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango, amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.
9 Who can say, "I have kept my heart pure; I am cleansed from my sin"? Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange, ndi mulongoofu era sirina kibi?”
10 Unequal weights and unequal measures—our Father detests them both. Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu, byombi bya muzizo eri Mukama.
11 Even a child is known by his actions, by whether his conduct is pure and upright. Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye, obanga birongoofu era nga birungi.
12 The hearing ear and the seeing eye—our Father made them both. Okutu okuwulira n’eriiso eriraba byombi Mukama ye y’abikola.
13 Do not love sleep, or you will grow poor; open your eyes, and you will have plenty of bread. Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala, tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.
14 "Worthless, worthless!" says the buyer—then off he goes and boasts of his bargain. “Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula; naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.
15 There is gold and an abundance of jewels, but lips that speak knowledge are a rare treasure. Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri, naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.
16 Take the garment of one who puts up security for a stranger; hold it as a pledge when he does so for foreigners. Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi, kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.
17 Bread gained by deceit tastes sweet, but afterward the mouth is full of gravel. Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya, naye emufuukira amayinja mu kamwa.
18 Plans are established by counsel; so wage war only with wise guidance. Kola entegeka nga weebuuza ku magezi, bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.
19 A gossip betrays a confidence; so do not keep company with a babbler. Oyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama, noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.
20 Whoever curses his father or mother—his lamp will be snuffed out in deepest darkness. Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina, ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.
21 An inheritance gained too quickly at the start will not be blessed in the end. Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka, ku nkomerero tebiba na mukisa.
22 Do not say, "I will pay back evil for evil." Wait for our Father, and he will deliver you. Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!” Lindirira Mukama alikuyamba.
23 Our Father detests unequal weights, and dishonest scales are no good. Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama, ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.
24 A person's steps are directed by our Father; how then can anyone understand his own way? Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama, omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?
25 It is a trap to rashly dedicate something and only later reconsider the vow. Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama, naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.
26 A wise king winnows out the wicked and drives the threshing wheel over them. Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi, n’ababonereza awatali kusaasira.
27 The human spirit is the lamp of our Father, searching every inmost part. Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu, n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.
28 Loyal love and faithfulness preserve a king; by loyal love his throne is upheld. Okwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu, era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.
29 The glory of the young is their strength, but the splendor of the old is gray hair. Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka, envi kye kitiibwa ky’abakadde.
30 Wounding blows scrub away evil, and beatings cleanse the inmost parts. Emiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi, n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]