Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The king's heart is a stream of water in our Father's hand; he turns it wherever he pleases. Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama, era agukyusiza gy’ayagala yonna.
2 Every way of a person seems right in their own eyes, but our Father weighs the heart. Buli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge, naye Mukama apima omutima.
3 To do what is right and just is more pleasing to our Father than sacrifice. Okukola ebituufu n’eby’amazima kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.
4 Haughty eyes and a proud heart—the lamp of the wicked—are sin. Amaaso ageegulumiza, n’omutima ogw’amalala, ye ttabaaza y’ababi, era ebyo kwonoona.
5 The plans of the diligent lead surely to abundance, but all who are hasty end up in poverty. Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere, naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.
6 Making a fortune by a lying tongue is a fleeting vapor, a deadly trap. Okufuna obugagga n’olulimi olulimba, mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.
7 The violence of the wicked will drag them away, because they refuse to do what is just. Obukambwe bw’ababi bulibamalawo, kubanga bagaana okukola eby’ensonga.
8 The way of the guilty is crooked, but the conduct of the pure is upright. Ekkubo ly’abazza emisango liba kyamu, naye ery’abataliiko musango liba golokofu.
9 Better to live in a corner of the roof than in a shared house with a quarrelsome wife. Okusula ku kasolya k’ennyumba, kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.
10 The soul of the wicked craves evil; their neighbor finds no mercy in their eyes. Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi; talaga muliraanwa we kisa n’akatono.
11 When a mocker is punished, the simple grow wise; when the wise are instructed, they gain knowledge. Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna; n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.
12 Our Father, the Righteous One, observes the house of the wicked and brings the wicked to ruin. Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi, era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.
13 Whoever shuts their ears to the cry of the poor will also cry out and not be answered. Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu, naye alikoowoola nga talina amwanukula.
14 A gift given in secret soothes anger, and a bribe slipped into the cloak calms strong wrath. Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi, n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.
15 When justice is done, it is a joy to the righteous but terror to those who do evil. Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu, naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.
16 A person who strays from the way of understanding will rest in the assembly of the dead. Omuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera, agukira mu bafu.
17 Whoever loves pleasure will become poor; whoever loves wine and oil will never grow rich. Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.
18 The wicked become a ransom for the righteous, and the treacherous for the upright. Abakozi b’ebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi, n’ekyandituuse ku b’amazima kituuka ku batali beesigwa.
19 Better to live in a desert land than with a quarrelsome and complaining wife. Okubeera mu ddungu, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.
20 Precious treasure and oil are in the home of the wise, but a fool devours all he has. Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo, naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.
21 Whoever pursues righteousness and faithful love will find life, righteousness, and honor. Agoberera obutuukirivu n’ekisa, alibeera n’obulamu obukulaakulana n’ekitiibwa.
22 A wise person scales the city of the mighty and brings down the stronghold they trust in. Omuntu ow’amagezi alumba ekibuga eky’abazira nnamige, era n’asesebbula enfo yaabwe gye beesiga.
23 Whoever guards their mouth and tongue keeps themselves out of trouble. Afuga akamwa ke n’olulimi lwe, yeewoonya emitawaana.
24 "Mocker" is the name of the proud and arrogant who acts with outrageous insolence. “Mukudaazi,” lye linnya ly’ab’amalala abeeraga, abeetwalira mu kwemanya okw’ekitalo mwe batambulira.
25 The craving of a lazy person kills him, for his hands refuse to work. Okwetaaga kw’omugayaavu lwe luliba olumbe lwe, kubanga emikono gye tegyagala kukola.
26 All day long the craving grows, but the righteous give and do not hold back. Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako, naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.
27 The sacrifice of the wicked is detestable—how much more when brought with evil intent. Ssaddaaka y’omubi ya muzizo, na ddala bw’agireeta ng’alina ekigendererwa ekitali kirungi.
28 A false witness will perish, but whoever listens will testify with lasting effect. Omujulizi ow’obulimba alizikirira, naye ekigambo ky’oyo ayogera eby’amazima kiribeerera emirembe gyonna.
29 The wicked put on a bold face, but the upright give thought to their ways. Omuntu omubi yeekazaakaza, naye omuntu ow’amazima yeegendereza amakubo ge.
30 There is no wisdom, no understanding, no counsel that can stand against our Father. Tewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso ebiyinza okulemesa Mukama.
31 The horse is made ready for the day of battle, but victory belongs to our Father. Embalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo, naye obuwanguzi buva eri Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]