Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 22 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 A good name is to be chosen rather than great riches, and favor is better than silver or gold. Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi, n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.
2 The rich and the poor meet together; our Father is the Maker of them all. Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta, Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
3 The prudent sees danger and takes cover, but the simple keep going and pay the price. Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka, naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.
4 The reward for humility and the fear of our Father is riches and honor and life. Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
5 Thorns and snares lie in the path of the crooked; whoever guards his soul stays far from them. Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu; naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.
6 Train up a child in the way he should go, and even when he is old he will not depart from it. Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu, ne bw’alikula talirivaamu.
7 The rich rules over the poor, and the borrower is slave to the lender. Omugagga afuga abaavu, naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.
8 Whoever sows injustice will reap calamity, and the rod of his fury will fail. Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana, n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.
9 Whoever has a generous eye will be blessed, for he shares his bread with the poor. Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa, kubanga emmere ye agirya n’abaavu.
10 Drive out the scoffer, and strife goes with him; quarreling and abuse will cease. Goba omunyoomi, entalo zinaagenda, ennyombo n’okuvumagana binaakoma.
11 Whoever loves a pure heart and speaks graciously will have the king as his friend. Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.
12 The eyes of our Father keep watch over knowledge, but he overturns the words of the traitor. Amaaso ga Mukama galabirira amazima, era adibya entegeka z’abatali beesigwa.
13 The lazy person says, "There is a lion outside! I will be killed in the streets!" Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,” oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”
14 The mouth of forbidden women is a deep pit; whoever draws our Father's anger will fall into it. Malaaya mutego gwa kabi, akolimiddwa Mukama mw’afiira.
15 Foolishness is bound up in the heart of a child, but the rod of discipline drives it far away. Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto, naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.
16 Whoever oppresses the poor to enrich himself, or gives to the rich, will come only to poverty. Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala, n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.
17 Listen carefully to the words of the wise, and apply your heart to my knowledge, Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi, n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
18 for it will be pleasant if you keep them within you, if all of them are ready on your lips. Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo, n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.
19 So that your trust may be in our Father, I have made them known to you today, even to you. Mbikumanyisa leero ggwe, obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
20 Have I not written for you thirty sayings of counsel and knowledge, Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula era ebikuwa okumanya?
21 to teach you what is right and true, so that you may give a true answer to those who sent you? Sikulaze ekirungi n’ekituufu, olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?
22 Do not rob the poor because he is poor, or crush the afflicted at the gate, Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu, oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23 for our Father will plead their cause and will rob of life those who rob them. Kubanga Mukama alibawolereza, n’abo ababanyaga alibanyaga.
24 Do not befriend a man given to anger, and do not go with a hot-tempered man, Tokwananga muntu wa busungu, oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,
25 or you will learn his ways and entangle yourself in a snare. oleme okuyiga amakubo ge ne weesuula mu mitawaana.
26 Do not be one of those who give pledges, who put up security for debts. Teweegattanga ku abo abeeyama, newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
27 If you have nothing to pay with, why should your bed be taken from under you? Bw’oliba nga tolina kya kusasula ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.
28 Do not move the ancient boundary stone that your fathers set up. Tojjululanga nsalo bajjajjaabo gye bassaawo edda.
29 Do you see a man skillful in his work? He will stand before kings; he will not stand before ordinary men. Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe? Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]