Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When you sit down to dine with a ruler, consider carefully what is before you, Bw’otuulanga okulya n’omufuzi, weetegerezanga ebiri mu maaso go;
2 and put a knife to your throat if you are a person ruled by appetite. era weegendereze bw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya.
3 Do not crave his delicacies, for they are deceptive food. Tolulunkanira mmere ye ennungi, kubanga erimbalimba.
4 Do not wear yourself out to get rich; have the wisdom to restrain yourself. Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga; weefuge obeere mukkakkamu.
5 The moment you look at wealth, it is gone, for it suddenly sprouts wings and flies off toward the heavens like an eagle. Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda, kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.
6 Do not eat the bread of a stingy man, and do not crave his delicacies, Tolyanga mmere ya muntu mukodo, wadde okwegomba ebirungi by’alya.
7 for he is the kind of man who keeps counting the cost. "Eat and drink!" he says to you, but his heart is not with you. Kubanga ye muntu abalirira ensimbi z’asaasaanyizza, n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,” naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.
8 You will vomit up the little you have eaten and will have wasted your pleasant words. Akatono k’onooba olidde onookasesema, ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere.
9 Do not speak in the hearing of a fool, for he will despise the wisdom of your words. Totegana kubuulirira musirusiru, kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi.
10 Do not move an ancient boundary stone or encroach on the fields of the fatherless, Tojjululanga nsalo ey’edda, so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,
11 for their Redeemer is strong; our Father will take up their cause against you. kubanga abalwanirira w’amaanyi, alikuggulako omusango.
12 Apply your heart to instruction and your ears to words of knowledge. Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa, n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera.
13 Do not withhold discipline from a child; if you strike him with the rod, he will not die. Tolekangayo kukangavvula mwana, bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
14 Strike him with the rod, and you will deliver his soul from the grave. Mubonerezenga n’akaggo, kiwonye emmeeme ye okufa.
15 My son, if your heart is wise, my own heart will be glad as well. Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi, kinsanyusa.
16 My inmost being will rejoice when your lips speak what is right. Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange, bw’onooyogeranga ebituufu.
17 Do not let your heart envy sinners, but continue in the fear of our Father all day long. Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya, kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.
18 Surely there is a future, and your hope will not be cut off. Mazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso, n’essuubi lyo eryo teririggwaawo.
19 Hear, my son, and be wise, and keep your heart on the right road. Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi, okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20 Do not be among those who get drunk on wine or those who gorge themselves on meat, Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge, n’abalulunkanira ennyama:
21 for the drunkard and the glutton will come to poverty, and drowsiness will clothe them in rags. Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala, n’okubongoota olutata kubambaza enziina.
22 Listen to your father, who gave you life, and do not despise your mother when she is old. Wulirizanga kitaawo eyakuzaala, so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
23 Buy truth and do not sell it; buy wisdom, instruction, and understanding. Gula amazima so togatunda, ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.
24 The father of a righteous child will greatly rejoice; whoever fathers a wise son will delight in him. Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi, n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
25 Let your father and mother be glad; let her who gave you birth rejoice. Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke, omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
26 My son, give me your heart, and let your eyes delight in my ways. Mwana wange mpa omutima gwo, n’amaaso go geekalirize amakubo gange,
27 For a prostitute is a deep pit, and an adulterous woman is a narrow well. kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu, n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.
28 She lies in wait like a robber and leads many men into faithlessness. Ateega ng’omutemu, n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.
29 Who has misery? Who has sorrow? Who has strife? Who has complaints? Who has wounds for no reason? Who has bleary eyes? Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku? Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?
30 Those who linger long over wine, those who go to sample bowls of mixed wine. Abo abatava ku mwenge, nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
31 Do not gaze at wine while it is red, while it sparkles in the cup and goes down smoothly. Totunuulira wayini ng’amyuse, bw’atemaganira mu ggiraasi ng’akka empolampola;
32 In the end it bites like a serpent and stings like a viper. ku nkomerero aluma ng’omusota, wa busagwa ng’essalambwa.
33 Your eyes will see strange things, and your heart will utter twisted things. Amaaso go galiraba ebyewuunyo, n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
34 You will be like one lying down in the heart of the sea, like one lying on the top of a ship's mast. Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja, obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
35 "They struck me, but I felt no pain; they beat me, but I did not know it. When will I wake up? I will look for another drink." Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa. Bankubye naye sirina kye mpuliddemu. Nnaazuukuka ddi, neeyongere okunywa?”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]