Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Do not envy evil men, and do not desire to be with them, Teweegombanga bakozi ba bibi era tobeesemberezanga.
2 for their hearts plot violence, and their lips speak of trouble. Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu, era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.
3 By wisdom a house is built, and by understanding it is established; Amagezi ge gazimba ennyumba, n’okutegeera kwe kugiggumiza.
4 and by knowledge its rooms are filled with all precious and pleasant riches. Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi, eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.
5 A wise man is full of strength, and a man of knowledge increases his power, Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza, n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
6 for by wise guidance you can wage your war, and victory comes through many counselors. Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa, n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.
7 Wisdom is too high for a fool; at the gate, he has nothing to say. Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru, talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.
8 Whoever plans to do evil will be called a schemer. Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi, aliyitibwa mukujjukujju.
9 A fool's scheming is sin, and the scoffer is detestable to people. Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona, abantu beetamwa omukudaazi.
10 If you falter in a time of trouble, your strength is small. Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu, olwo ng’olina amaanyi matono!
11 Rescue those being taken away to death, and hold back those stumbling toward the slaughter. Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa, n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
12 If you say, "Look, we did not know this," does not he who weighs the heart perceive it? Does not he who watches over your soul know it? And will he not repay each person according to his deeds? Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,” oyo akebera emitima aba talaba? Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi? Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
13 My son, eat honey, for it is good, and the honeycomb's drippings are sweet to your taste. Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi, omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14 Know that wisdom is just like this to your soul; if you find it, there is a future, and your hope will not be cut off. Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo, bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso, n’essuubi lyo teririkoma.
15 Do not lie in wait, you wicked man, against the home of the righteous; do not destroy his resting place, Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu, tonyaganga maka ge.
16 for though the righteous falls seven times, he rises again, but the wicked stumble in disaster. Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka, naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.
17 Do not rejoice when your enemy falls, and do not let your heart be glad when he stumbles, Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde, bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18 lest our Father see it and be displeased, and turn his anger away from him. Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa, n’amusunguwalira.
19 Do not fret because of evildoers, and do not envy the wicked, Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi, so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.
20 for the evil man has no future; the lamp of the wicked will be snuffed out. Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso, ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.
21 My son, fear our Father and the king, and do not join with those who rebel against them, Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka, era teweetabanga na bajeemu.
22 for their disaster will rise suddenly, and who knows the ruin that both of them can bring? Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
23 These also are sayings of the wise: Showing partiality in judgment is not good. Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi. Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.
24 Whoever says to the guilty, "You are innocent," peoples will curse him and nations will denounce him, Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,” abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.
25 but it will go well for those who convict the guilty, and a rich blessing will come upon them. Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu, n’omukisa omulungi gulibatuukako.
26 An honest answer is like a kiss on the lips. Eky’okuddamu eky’amazima, kiri ng’okunywegerwa.
27 Prepare your work outside, get your fields ready, and after that build your house. Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru, oteeketeeke ennimiro zo, n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.
28 Do not be a witness against your neighbor without cause; would you deceive with your lips? Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo, so akamwa ko tekalimbanga.
29 Do not say, "I will do to him as he did to me; I will pay the man back for what he has done." Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze, era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”
30 I passed by the field of a lazy man, by the vineyard of someone lacking sense, Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu, ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
31 and there it was, all overgrown with thorns; the ground was covered with weeds, and its stone wall was broken down. Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa, wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo, n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
32 Then I looked and took it to heart; I saw and received instruction. Ne neekaliriza ne ntegeera ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33 A little sleep, a little slumber, a little folding of the hands to rest, Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono, n’okufunya emikono okuwummulako,
34 and poverty will come upon you like a robber, and scarcity like an armed man. obwavu bulikutuukako ng’omutemu, era n’obwetaavu ng’omutemu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]