Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 25 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 These also are proverbs of Solomon, which the men of Hezekiah king of Judah copied out. Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.
2 It is the glory of our Father to conceal a matter, but the glory of kings to search a matter out. Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda, naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.
3 As the heavens are high and the earth is deep, so the heart of kings is unsearchable. Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi, bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.
4 Take away the dross from the silver, and a vessel comes forth for the refiner. Effeeza giggyeemu ebisejja, olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.
5 Take away the wicked from before the king, and his throne will be established in righteousness. Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka, entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.
6 Do not put yourself forward in the king's presence, and do not stand in the place of the great; Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
7 for it is better to be told, "Come up here," than to be put in a lower place in front of a noble you can see. Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,” kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.
8 Do not rush into a quarrel, for what will you do in the end when your neighbor puts you to shame? Amaaso go bye galabye tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga, kubanga oluvannyuma onookola otya munno bw’anaakuswaza?
9 Argue your case with your neighbor himself, but do not disclose another's secret, Bw’owozanga ne muliraanwa wo, tobikkulanga kyama kya muntu mulala,
10 lest the one who hears it shame you, and your bad reputation never goes away. akiwulira aleme okukuswaza; n’onyoomebwa ebbanga lyonna.
11 A word spoken at the right moment is like apples of gold in settings of silver. Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde, kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.
12 Like a ring of gold or an ornament of fine gold is wise correction to a listening ear. Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi, bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.
13 Like the cold of snow in the time of harvest is a faithful messenger to those who send him; he refreshes the soul of his masters. Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu, bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma, aweweeza emmeeme ya bakama be.
14 Like clouds and wind without rain is one who boasts of a gift never given. Ng’ebire n’empewo omutali nkuba, omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.
15 By patience a ruler is persuaded, and a soft tongue breaks bone. Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi, n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.
16 If you find honey, eat only enough, or you will have too much and vomit. Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala, si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17 Don't visit your neighbor's house too often, or he will grow weary of you and hate you. Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo, si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.
18 Like a club, a sword, and a sharp arrow is one who bears false witness against his neighbor. Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we, ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.
19 Like a bad tooth or a foot out of joint is trust in a faithless person in time of trouble. Okwesiga omuntu ateesigika, kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.
20 Like one who takes off a garment on a cold day, like vinegar poured on baking soda, is the one who sings songs to a heavy heart. Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti, era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu, bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.
21 If your enemy is hungry, give him bread to eat, and if he is thirsty, give him water to drink; Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye, bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 for you will heap coals of fire on his head, and our Father will reward you. Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera.
23 The north wind brings forth rain, and a secretive tongue, angry looks. Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba, n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.
24 It is better to live in a corner of the rooftop than in a shared house with a quarrelsome wife. Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.
25 Like cold water to a weary soul is good news from a distant land. Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta, bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.
26 Like a muddied spring or a polluted fountain is a righteous person who gives way before the wicked. Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese, bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.
27 It is not good to eat too much honey, nor to seek your own glory. Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi, bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.
28 Like a city broken into and left without walls is a person who has no control over his own spirit. Omuntu ateefuga ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]