Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 26 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Like snow in summer and like rain at harvest, honor is not fitting for a fool. Ng’omuzira bwe gutasaana mu biseera bya kusiga oba enkuba mu makungula, n’ekitiibwa bwe kitasaanira musirusiru.
2 Like a fluttering sparrow or a darting swallow, an undeserved curse does not come to rest. Ng’enkazaluggya ewabye, ng’akataayi akabuukabuuka, ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.
3 A whip for the horse, a bridle for the donkey, and a rod for the backs of fools. Embooko ya mbalaasi, n’olukoba lwa ndogoyi, n’omuggo gusaanira migongo gya basirusirusiru.
4 Do not answer a fool according to his foolishness, or you yourself will be like him. Toyanukulanga musirusiru ng’obusirusiru bwe, bwe buli, oleme kubeera nga ye.
5 Answer a fool according to his foolishness, or he will be wise in his own eyes. Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe, bwe buli, si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.
6 Whoever sends a message through a fool cuts off his own feet and drinks down violence. Omuntu atuma omusirusiru, aba ng’eyeetemyeko ebigere n’anywa obusungu.
7 Like the legs of a lame man hanging useless is a proverb in the mouth of fools. Ng’amagulu g’omulema bwe galengejja obulengezzi, bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’omusirusiru.
8 Like binding a stone in a sling is giving honor to a fool. Ng’atadde ejjinja mu nvuumuulo bw’aba, n’oyo awa omusirusiru ekitiibwa bw’atyo bw’abeera.
9 Like a thornbush in the hand of a drunkard is a proverb in the mouth of fools. Ng’eriggwa bwe lifumita mu mukono gw’omutamiivu, bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’abasirusiru.
10 Like an archer who wounds everyone is one who hires a fool or hires any passerby. Ng’omulasi w’akasaale, amala galasa buli gw’asanze, bw’abeera bw’atyo apangisa omusirusiru oba omuyise yenna gw’asanze.
11 As a dog returns to its vomit, so a fool repeats his foolishness. Ng’embwa bw’eddira ebisesemye by’ayo, bw’atyo bw’abeera omusirusiru adda mu nsobi ze.
12 Do you see someone wise in his own eyes? There is more hope for a fool than for him. Olaba omuntu omugezi mu maaso ge ye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
13 The lazy person says, "There is a lion in the road! A lion in the streets!" Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma, empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”
14 As a door turns on its hinges, so the lazy person turns on his bed. Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo, bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.
15 The lazy person buries his hand in the dish; it wearies him to bring it back to his mouth. Omugayaavu akoza n’engalo ze mu kibya, naye olw’obunafu bwe n’atasobola kuzizza mu kamwa.
16 The lazy person is wiser in his own eyes than seven who answer wisely. Omugayaavu alowooza nti mugezi, okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.
17 Like grabbing a dog by the ears is a passerby who meddles in a quarrel not his own. Ng’asika embwa amatu, omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.
18 Like a madman shooting firebrands, arrows, and death, Ng’omulalu akasuka emmuli ez’omuliro oba obusaale obutta,
19 so is the one who deceives his neighbor and says, "I was only joking!" bw’abeera omuntu alimba munne, n’agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”
20 Without wood a fire goes out, and without a gossip a quarrel dies down. Enku bwe zibula omuliro guzikira, awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.
21 As charcoal to embers and wood to fire, so a quarrelsome person kindles strife. Ng’amanda ku gannaago agaliko omuliro, oba enku ku muliro, bw’abeera omusajja omuyombi mu kuwakula entalo.
22 The words of a gossip are like choice morsels; they sink down into the inmost parts. Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera, bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
23 Like a glaze covering an earthen pot are smooth lips with an evil heart. Ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere, bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.
24 An enemy disguises himself with his lips, but in his heart he harbors deceit. Omuntu ow’enkwe alimbalimba n’emimwa gye naye ng’aterese obulimba mu mutima gwe.
25 When he speaks graciously, do not believe him, for seven abominations fill his heart. Wadde nga by’ayogera bisanyusa, tomukkiririzaamu kubanga eby’emizizo musanvu bijjuza mu mutima gwe.
26 Though his hatred is hidden by deceit, his wickedness will be exposed in the assembly. Enkwe ze ziyinza okubikkibwa mu kubuzaabuuza, naye obutali butuukirivu bwe buliggyibwayo mu lukuŋŋaana.
27 Whoever digs a pit will fall into it, and a stone rolls back on the one who rolls it. Buli asima ekinnya y’alikigwamu, n’oyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.
28 A lying tongue hates those it crushes, and a flattering mouth works ruin. Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita, n’akamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]