Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 27 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Do not boast about tomorrow, for you do not know what a day may bring. Teweenyumirizanga mu bya nkya, kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.
2 Let someone else praise you, and not your own mouth; a stranger, and not your own lips. Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe, omuntu omulala so si mimwa gyo.
3 A stone is heavy and the sand a burden, but a fool's provocation is heavier than both. Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito, naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.
4 Wrath is cruel and anger is overwhelming, but who can stand before jealousy? Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo, naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?
5 Open rebuke is better than love that stays hidden. Okunenya mu lwatu, kisinga okwagala okukisibbwa.
6 A friend's wounds are faithful, but an enemy's kisses are deceitful. Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi, naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.
7 A well-fed person tramples honeycomb, but to the hungry even what is bitter tastes sweet. Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki, naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.
8 A man who strays from his home is like a bird that strays from its nest. Ng’akanyonyi akadduka mu kisu kyako, bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge.
9 Oil and incense gladden the heart, and the sweetness of a friend comes from heartfelt counsel. Ebyakaloosa bisanyusa omutima, n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.
10 Do not forsake your friend or your father's friend, and do not go to your brother's house when disaster strikes; better a neighbor nearby than a brother far off. Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga, olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana. Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.
11 Be wise, my son, and make my heart glad, so that I can answer anyone who taunts me. Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange, ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.
12 The prudent sees danger and takes cover, but the simple keep going and pay the price. Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka, naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.
13 Take the garment of one who puts up security for a stranger; hold it as collateral when he does so for a foreign woman. Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi, era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.
14 Whoever blesses his neighbor with a loud voice early in the morning, it will be taken as a curse. Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana, obanga amukolimidde.
15 A quarrelsome wife is like a constant dripping on a rainy day. Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata, ku lunaku olw’enkuba ennyingi.
16 Restraining her is like restraining the wind, or grasping oil with the right hand. Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba ng’anyweza omuzigo mu ngalo.
17 Iron sharpens iron, and one person sharpens another. Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma, n’omuntu bw’abangula muntu munne.
18 Whoever tends a fig tree will eat its fruit, and whoever guards his master will be honored. Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo, n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.
19 As water reflects the face, so the heart reflects the person. Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso, bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana.
20 The grave and Destruction are never satisfied, and a person's eyes are never satisfied. Amagombe ne ggeyeena tebikkuta, n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta.
21 The crucible is for silver and the furnace for gold, and a person is tested by the praise he receives. Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu, naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.
22 Though you grind a fool in a mortar with a pestle, along with the grain, his foolishness will not leave him. Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu, nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu, obusirusiru bwe tobumuggyaamu.
23 Know well the condition of your flocks, and give careful attention to your herds. Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo, ossangayo omwoyo ku ggana lyo.
24 For riches do not last forever, nor does a crown endure to every generation. Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna, n’engule tebeerera mirembe gyonna.
25 When the grass is gone and the new growth appears and the mountain herbs are gathered, Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo, nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,
26 the lambs will provide your clothing, and the goats will provide the price of a field; abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala, n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
27 and there will be enough goats' milk for your food, for the food of your household and to sustain your servant girls. Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo, n’okuliisa abaweereza bo abawala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]