Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 28 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The wicked flee when no one pursues, but the righteous are as bold as a lion. Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba, naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.
2 When a land rebels, it has many rulers, but with a man of understanding and knowledge, it stays stable. Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi, naye olw’omuntu alina okutegeera n’okumanya obutebenkevu budda nate mu nsi.
3 A poor man who oppresses the helpless is like a driving rain that leaves no food. Omufuzi anyigiriza abaavu, afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza n’eterekaawo birime.
4 Those who forsake the law praise the wicked, but those who keep the law strive against them. Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi, naye abo abagakuuma babawakanya.
5 Evil people do not understand justice, but those who seek our Father understand it fully. Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya, naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.
6 Better is a poor man who walks with integrity than a rich man crooked in his ways. Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga omugagga ow’amakubo amakyamu.
7 Whoever keeps the law is a son with understanding, but a companion of gluttons shames his father. Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza, naye mukwano gw’ab’omululu akwasa kitaawe ensonyi.
8 Whoever multiplies his wealth by interest and unjust gain gathers it for one who is generous to the poor. Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya, abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba ow’ekisa eri abaavu.
9 If anyone refuses to listen to the law, even his prayer is detestable. Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama, n’okusaba kwe tekukkirizibwa.
10 Whoever leads the upright astray down an evil path will fall into his own pit, but the blameless will inherit good things. Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi, aligwa mu katego ke ye, naye abatuukirivu balisikira ebirungi.
11 A rich man is wise in his own eyes, but a poor man with understanding sees right through him. Omugagga alowooza nti mugezi, naye omwavu alina okutegeera, amunyooma.
12 When the righteous triumph, there is great glory, but when the wicked rise, people go into hiding. Abatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okw’amaanyi, naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuna obuyinza abantu beekweka.
13 Whoever conceals his sins will not prosper, but whoever confesses and turns from them will find mercy. Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana, naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.
14 Blessed is the one who always remains reverent, but whoever hardens his heart will fall into calamity. Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna, naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.
15 Like a roaring lion or a charging bear is a wicked ruler over a helpless people. Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa, bw’abeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola.
16 A ruler who lacks understanding is a cruel oppressor, but whoever hates unjust gain will prolong his days. Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya, naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera n’essanyu ery’obulamu obuwangaazi.
17 A man weighed down by the guilt of bloodshed will be a fugitive until death; let no one support him. Omuntu alumirizibwa olw’okutta munne, alibeera mu kutegana okutuusa okufa, tewabanga n’omu amuyamba.
18 Whoever walks in integrity will be kept safe, but whoever is crooked in his ways will suddenly fall. Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi, naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo.
19 Whoever works his land will have plenty of bread, but whoever chases empty pursuits will have plenty of poverty. Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi, naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu.
20 A faithful man will abound with blessings, but whoever rushes to get rich will not go unpunished. Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi, naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.
21 Showing partiality is not good, yet for a piece of bread a man will do wrong. Okuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi, naye ate olw’okunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango.
22 A stingy man rushes after wealth and does not know that poverty will overtake him. Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala, naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.
23 Whoever rebukes a man will in the end find more favor than one who flatters with his tongue. Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja, okusinga oyo awaaniriza n’olulimi.
24 Whoever robs his father or mother and says, "It is no sin," is a companion to one who destroys. Buli anyaga kitaawe, oba nnyina, n’agamba nti, “Si nsonga,” afaanana n’oyo azikiriza.
25 A greedy man stirs up strife, but whoever trusts in our Father will be enriched. Omuntu ow’omululu aleeta oluyombo, naye oyo eyeesiga Mukama aligaggawazibwa.
26 Whoever trusts in his own heart is a fool, but whoever walks in wisdom will be kept safe. Eyeesiga omutima gwe, musirusiru, naye oyo atambulira mu magezi alifuna emirembe.
27 Whoever gives to the poor will lack nothing, but whoever closes his eyes to them will receive many curses. Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga, naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi.
28 When the wicked rise, people go into hiding, but when they perish, the righteous flourish. Abakozi b’ebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka, naye abakozi b’ebibi bwe bazikirira, abatuukirivu bakulaakulana.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]