Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 29 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Whoever is often corrected yet refuses to listen will suddenly be broken beyond healing. Omuntu akakanyaza omutima gwe oluvannyuma lw’okunenyezebwa emirundi emingi, alizikirira ng’atamanyiridde awatali kuwona.
2 When the righteous flourish, the people rejoice, but when the wicked rule, the people groan. Abatuukirivu bwe bakulaakulana, abantu basanyuka, naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuga abantu babeera mu kusinda.
3 A man who loves wisdom brings joy to his father, but a companion of prostitutes squanders his wealth. Ayagala amagezi asanyusa kitaawe, naye munne w’abamalaaya ayiwaayiwa obugagga bwe.
4 By justice a king gives a land stability, but one who is greedy for bribes tears it down. Kabaka afuga n’obwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu, naye oyo alulunkanira enguzi, ensi agyonoona.
5 A man who flatters his neighbor spreads a net for his feet. Omuntu awaanawaana munne, aba yeetega yekka ekitimba.
6 An evil man is snared by his own sin, but the righteous sing and rejoice. Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega, naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.
7 The righteous care about justice for the poor, but the wicked have no such understanding. Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu, naye abakozi b’ebibi tebakola bwe batyo.
8 Mockers set a city ablaze, but the wise calm the anger. Abakudaazi basasamaza ekibuga, naye abantu abalina amagezi baziyiza entalo.
9 When a wise man goes to court with a fool, the fool rages and scoffs, and there is no peace. Omuntu ow’amagezi bw’awoza n’omusirusiru, omusirusiru ayongera kusunguwala, n’okujerega ne wataba mirembe.
10 The bloodthirsty hate the blameless and seek to kill the upright. Abeegomba okuyiwa omusaayi bakyawa omuntu ow’amazima, era banoonya okusaanyaawo obulamu bwe.
11 A fool vents all his anger, but a wise man holds it back and keeps himself calm. Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.
12 If a ruler listens to lies, all his officials become wicked. Omufuzi bw’awuliriza eby’obulimba, abakungu be bonna bafuuka babi.
13 The poor man and the oppressor have this in common: our Father gives sight to the eyes of both. Omwavu n’oyo amubonyaabonya balina ekibagatta: Mukama bombi ye yabawa amaaso.
14 If a king judges the poor with fairness, his throne will be established forever. Kabaka bw’asalira abaavu emisango n’obwesigwa, obufuzi bwe bubeerera emirembe gyonna.
15 The rod and a word of correction give wisdom, but a child left to himself brings shame to his mother. Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi, naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.
16 When the wicked flourish, wrongdoing flourishes, but the righteous will see the wicked's downfall. Abakozi b’ebibi bwe beeyongera obungi, okumenya amateeka kweyongera, naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.
17 Discipline your son, and he will give you peace; he will bring delight to your heart. Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe, alireetera emmeeme yo essanyu.
18 Where there is no revelation, the people run wild, but blessed is the one who keeps the law. Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza, naye wa mukisa oyo akuuma amateeka ga Mukama.
19 A servant cannot be corrected by words alone; though he understands, he will not obey. Omuweereza tayinza kubuulirirwa na bigambo byokka; ne bw’aba ategedde tafaayo.
20 Do you see a man who is hasty with his words? There is more hope for a fool than for him. Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
21 Pamper a servant from childhood, and in the end he will become like an heir. Atiitiibya omuweereza we ekiyitiridde ng’akyali mwana muto, oluvannyuma omuweereza aleetera mukama we obuyinike.
22 An angry man stirs up strife, and a hot-tempered man commits many sins. Omuntu ow’obusungu aleeta ennyombo, n’omuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.
23 A man's pride brings him low, but a humble spirit gains honor. Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa, naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
24 An accomplice of a thief is his own enemy; he hears the curse but says nothing. Buli assa ekimu n’omubbi akyawa obulamu bwe ye, era ne bw’alayizibwa tasaanira kubaako ky’ayogera.
25 Fear of man lays a snare, but whoever trusts in our Father is kept safe. Okutya omuntu kuleeta ekyambika, naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
26 Many seek a ruler's favor, but justice for a person comes from our Father. Bangi abanoonya okuganja mu maaso g’omufuzi, naye obwenkanya obwa nnama ddala buva eri Mukama.
27 An unjust man is detestable to the righteous, and an upright person is detestable to the wicked. Atali mutuukirivu wa muzizo eri abatuukirivu; era omwesimbu wa muzizo eri abakozi b’ebibi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]