Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 30 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The words of Agur son of Jakeh—the oracle. The man declares: I am weary, O my Father; I am weary, O my Father, and worn out. Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno: Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali.
2 Surely I am too brutish to be a man; I do not have the understanding of a man. Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera, sirina kutegeera kwa bantu.
3 I have not learned wisdom, nor do I have knowledge of the Holy One. Siyize magezi, so n’oyo Omutukuvu simumanyi.
4 Who has ascended to heaven and come down? Who has gathered the wind in the hollow of his hands? Who has wrapped the waters in a garment? Who has established all the ends of the earth? What is his name, and what is his son's name? Surely you know! Ani eyali alinnye mu ggulu n’akka? Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi? Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani? Mbulira obanga obimanyi.
5 Every word of our Father proves true; he is a shield to those who take refuge in him. Buli kigambo kya Katonda kya mazima, era aba ngabo eri abo abamwesiga.
6 Do not add to his words, or he will rebuke you and prove you a liar. Toyongeranga ku bigambo bye, alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba.
7 Two things I ask of you; do not withhold them from me before I die: Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama, tobinnyimanga nga sinnafa:
8 Keep falsehood and lies far from me; give me neither poverty nor riches; feed me only the bread that is my portion, Ebigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala, ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
9 for if I am full, I may deny you and say, "Who is God?" or if I am poor, I may steal and profane the name of my God. Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.
10 Do not slander a servant to his master, or he will curse you and you will be found guilty. Tosekeetereranga muweereza eri mukama we, alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga.
11 There is a generation that curses its father and does not bless its mother. Waliwo abo abakolimira bakitaabwe ne batasabira na bannyaabwe mukisa;
12 There is a generation clean in its own eyes yet not washed of its filth. abo abeeraba ng’abatuukirivu bo mu maaso gaabwe, ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe.
13 There is a generation—how proud its eyes, how scornful its glances! Waliwo abo ab’amalala amayitirivu, abatunuza okwemanya okw’ekitalo,
14 There is a generation whose teeth are swords, whose fangs are knives, to devour the poor from the earth and the needy from among mankind. n’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala, n’emba zaabwe nga zirimu ebiso, okusaanyaawo abaavu mu nsi, n’abo abali mu kwetaaga.
15 The leech has two daughters: "Give" and "Give." Three things are never satisfied; four never say, "Enough": Ekinoso kirina bawala baakyo babiri abaleekaana nti, “Mpa! mpa!” Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta, weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”
16 The grave, the barren womb, the land never satisfied with water, and the fire that never says, "Enough." Amagombe, olubuto olugumba, ettaka eritakutta mazzi, n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!”
17 The eye that mocks a father and scorns to obey a mother—the ravens of the valley will pluck it out, and the young vultures will eat it. Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe, era n’atagondera nnyina, liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu, ne liriibwa ensega.
18 Three things are too wonderful for me; four I do not understand: Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi, weewaawo bina bye sitegeera:
19 the way of an eagle in the sky, the way of a serpent on a rock, the way of a ship in the heart of the sea, and the way of a man with a young woman. Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga, n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja, n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja, n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.
20 This is the way of an adulteress: she eats and wipes her mouth and says, "I have done no wrong." Bw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi: alya n’asiimuula emimwa gye n’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
21 Under three things the earth trembles; under four it cannot bear up: Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatu weewaawo bina:
22 a servant when he becomes king, and a fool when he is filled with food; omuweereza bw’afuuka kabaka, n’omusirusiru bw’akutta emmere;
23 an unloved woman when she finally marries, and a servant girl when she displaces her mistress. n’omukazi eyadibira mu ddya; n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.
24 Four things on earth are small, yet they are exceedingly wise: Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi, ebirina amagezi amangi ennyo.
25 the ants are a people not strong, yet they store up their food in the summer; Enkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi, naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;
26 the rock badgers are a people not mighty, yet they make their homes in the cliffs; obumyu busolo bunafu naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27 the locusts have no king, yet all of them advance in ranks; enzige tezirina kabaka, kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;
28 the lizard you can catch in your hands, yet it is found in kings' palaces. omunya oyinza okugukwasa engalo, naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.
29 Three things are stately in their stride; four are stately in their walk: Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula, weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:
30 the lion, mightiest among beasts, which turns back before nothing; empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;
31 the strutting rooster, the male goat, and a king whose army is with him. sseggwanga, n’embuzi ennume, ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.
32 If you have been foolish, exalting yourself, or if you have schemed evil, put your hand over your mouth. Bw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza, obanga obadde oteekateeka okukola ebibi, weekomeko weekwate ku mumwa.
33 For pressing milk produces curds, pressing the nose produces blood, and pressing anger produces strife. Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo, n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi, okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]