Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Better a dry crust eaten in peace than a house full of feasting with strife. Okulya akamere akaluma awali emirembe, kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.
2 A prudent servant will rule over a disgraceful son and will share the inheritance among the brothers. Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi, era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.
3 The crucible is for silver and the furnace for gold, but our Father tests hearts. Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu, naye Mukama agezesa emitima.
4 An evildoer listens to wicked lips; a liar listens to a destructive tongue. Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba, era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.
5 Whoever mocks the poor insults his Maker; whoever gloats over disaster will not go unpunished. Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda, n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.
6 Grandchildren are the crown of the aged, and the glory of children is their parents. Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe, era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.
7 Fine speech is not fitting for a fool—still less are lying lips for a noble. Enjogerannungi teba ya musirusiru, ng’oweekitiibwa bw’atasaana kwogera bya bulimba.
8 A bribe seems like a magic charm to the one who gives it; wherever he turns, he thinks he will succeed. Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba, alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.
9 Whoever covers an offense seeks love, but whoever keeps bringing it up separates close friends. Okwagala tekulondoola nsobi, naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.
10 A rebuke goes deeper into a person of understanding than one hundred blows into a fool. Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera, okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.
11 A rebellious man seeks only evil, and a cruel messenger will be sent against him. Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere, era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.
12 Better to meet a bear robbed of her cubs than a fool in his foolishness. Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo, kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.
13 If anyone returns evil for good, evil will never leave his house. Omuntu bw’asasula ekibi olw’obulungi, ekibi tekiriva mu nnyumba ye.
14 Starting a quarrel is like breaching a dam, so drop the dispute before it bursts out. Okutandika oluyombo kuli ng’omuntu bw’asumulula omudumu gw’amazzi, noolwekyo vvaawo ng’oluyombo terunnatandika.
15 Whoever justifies the wicked and whoever condemns the righteous—both alike are detestable to our Father. Eyejjeereza omukozi w’ebibi n’oyo avumirira omutuukirivu, bombi ba muzizo eri Mukama.
16 Why should a fool have money in hand to buy wisdom, when he has no heart to learn? Omusirusiru agasibwa ki okuba ne ssente ezisasulibwa amagezi, ng’ate ye talina mutima gwegomba magezi?
17 A friend loves at all times, and a brother is born for a time of trouble. Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera, era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.
18 One who lacks sense shakes hands on a pledge and puts up security for his neighbor. Omuntu atalina magezi awa obweyamo ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.
19 Whoever loves wrongdoing loves strife; whoever builds his gate high invites destruction. Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo, n’oyo akola omulyango omunene ogw’omu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.
20 A crooked heart finds no good, and a twisted tongue falls into trouble. Omuntu ow’omutima omubambaavu takulaakulana, n’oyo ow’olulimi olulimba agwa mu katyabaga.
21 Whoever fathers a fool brings grief on himself; the father of a godless fool has no joy. Omwana omusirusiru aleetera kitaawe obuyinike, kitaawe w’omusirusiru taba na ssanyu.
22 A joyful heart is good medicine, but a crushed spirit dries up the bones. Omutima ogw’essanyu ddagala ddungi, naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.
23 A wicked man takes a bribe in secret to pervert the ways of justice. Omuntu omubi alya enguzi mu kyama, alyoke aziyize amazima okweyoleka.
24 A discerning person keeps wisdom in view, but the eyes of a fool wander to the ends of the earth. Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi, naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.
25 A foolish son is a grief to his father and bitterness to the mother who bore him. Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe, era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.
26 To punish the righteous is not good, nor to flog the noble for their integrity. Si kirungi okuweesa omutuukirivu engassi ey’obwereere wadde okukuba ab’ekitiibwa embooko olw’obwesimbu bwabwe.
27 Whoever holds back his words has knowledge, and one with a calm spirit is a person of understanding. Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera n’okutegeera, n’oyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.
28 Even a fool who keeps silent is thought wise; when he closes his lips, he seems discerning. Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi, era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]