Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The plans of the heart belong to man, but the answer of the tongue comes from our Father. Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe, Naye okuddamu kuva eri Mukama.
2 All a man's ways are pure in his own eyes, but our Father weighs the motives. Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye, naye Mukama y’apima ebigendererwa.
3 Commit your works to our Father, and your plans will be established. Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama, naye anaatuukirizanga entegeka zo.
4 Our Father has made everything for its purpose, even the wicked for the day of trouble. Mukama buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa, n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.
5 Everyone proud of heart is detestable to our Father; be assured, he will not go unpunished. Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama; weewaawo talirema kubonerezebwa.
6 Loving devotion and faithfulness atone for sin, and the fear of our Father turns a person away from evil. Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa, n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.
7 When a man's ways please our Father, our Father makes even the man's enemies live at peace with him. Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa Mukama, aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe.
8 Better a little with righteousness than great income with injustice. Akatono akafune mu butuukirivu, kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.
9 The heart of man plans his way, but our Father establishes his steps. Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye, naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.
10 A divine verdict is on the lips of a king; his mouth does not betray justice. Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda, n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.
11 Honest scales and balances belong to our Father; every weight and measure is his work. Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama, ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.
12 It is detestable for kings to do wickedness, for a throne is established through righteousness. Kya muzizo bakabaka okukola ebibi, kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.
13 Righteous lips are the delight of kings, and they love the one who speaks what is right. Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira, era baagala oyo ayogera amazima.
14 A king's wrath is a messenger of death, but a wise man will appease it. Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa, omusajja ow’amagezi alibukkakkanya.
15 In the light of a king's face is life, and his favor is like a cloud bringing the spring rain. Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu; n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba mu biseera ebya ttoggo.
16 How much better to get wisdom than gold! Getting understanding is worth more than silver. Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu, era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!
17 The highway of the upright turns away from evil; whoever guards his way protects his life. Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi, n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.
18 Pride goes before destruction, and a haughty spirit before a fall. Amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
19 Better to be lowly in spirit among the poor than to share the plunder with the proud. Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu, kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.
20 Whoever heeds the word will find good, and blessed is the one who trusts in our Father. Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana, era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.
21 The wise of heart is called discerning, and pleasant speech increases persuasiveness. Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu, n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.
22 Understanding is a fountain of life to the one who has it, but fools are corrected by their own foolishness. Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina, naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.
23 The heart of the wise makes his speech wise and adds persuasiveness to his lips. Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi, era akamwa ke kayigiriza abalala.
24 Pleasant words are a honeycomb, sweet to the soul and healing to the bones. Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki, biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.
25 There is a way that seems right to a man, but its end is the way of death. Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu, naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.
26 A worker's appetite works for him; his hunger drives him on. Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi, kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.
27 A worthless man digs up evil, and on his lips is a scorching fire. Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu, era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo.
28 A perverse man spreads strife, and a gossip separates close friends. Omuntu omubambaavu asiikuula entalo, n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.
29 A violent man entices his neighbor and leads him down a harmful path. Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we n’amutwala mu kkubo eritali ttuufu.
30 Whoever winks his eyes plots perversity; whoever purses his lips is bent on evil. Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona, n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.
31 Gray hair is a crown of glory; it is gained in the way of righteousness. Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa, gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.
32 Better a patient person than a mighty one, and one who rules his spirit than one who takes a city. Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi, n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.
33 The lot is cast into the lap, but its every decision is from our Father. Akalulu kayinza okukubibwa, naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]