Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hosea 6 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Obujeemu bwa Isirayiri

1“Mujje, tudde eri Mukama.Atutaaguddetaagudde,naye alituwonya;atuleeseeko ebiwundu,naye ebiwundu alibinyiga.

2Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunakuolwokusatu alituzza buggya,ne tubeera balamu mu maaso ge.

3Tumanye Mukama;tunyiikire okumumanya.Ng’enjuba bw’evaayo enkya,bw’atyo bw’alirabika;alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”

4Nkukolere ki, Efulayimu?Nkukolere ki, Yuda?Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.

5Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.

6Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.

7Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano,tebaali beesigwa.

8Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi,era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.

9Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo,n’ebibiina bya bakabonabwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu,ne bazza emisango egy’obuswavu.

10Ndabye eby’ekivvemu nnyumba ya Isirayiri;era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya,ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.

11“Naawe Yuda,amakungula gatuuse.“Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]