Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hosea 5 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Isirayiri Asalirwa Omusango

1Muwulire kino mmwe bakabona!Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!Omusango guli ku mmwe:Mubadde kyambika e Mizupa,era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.

2Abajeemu bamaliridde okutta,naye ndibabonereza bonna.

3Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,so ne Isirayiri tankisibwa.Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,ne Isirayiri yeeyonoonye.

4Ebikolwa byabwe tebibaganyakudda eri Katonda waabwe,kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,so tebamanyi Mukama.

5Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;ne Yuda alyesittalira wamu nabo.

6Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabweokunoonya Mukama,tebalimulaba;abaviiridde, abeeyawuddeko.

7Tebabadde beesigwa eri Mukama;bazadde abaana aboobwenzi.Embaga ez’omwezi ogwakabonekakyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.

8Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,n’ekkondeere mu Laama.Muyimuse amaloboozi e Besaveni;mutukulembere mmwe Benyamini.

9Efulayimu alifuuka matongoku lunaku olw’okubonerezebwa.Nnangirira ebiribaawomu bika bya Isirayiri.

10Abakulembeze ba Yuda bali ng’aboabajjulula ensalo,era ndibafukako obusungu bwangeng’omujjuzo gw’amazzi.

11Efulayimu anyigirizibwa,era omusango gumumezze,kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.

12Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.

13“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,ne Yuda n’alaba ekivundu kye,Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.Naye tasobola kubawonyanewaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.

14Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.

15Ndiddayo mu kifo kyange,okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.Balinnoonya,mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]