Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hosea 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hear this, priests! Pay attention, house of Israel! Listen, house of the king! For the judgment is meant for you, because you have been a snare at Mizpah and a net spread out on Tabor. Muwulire kino mmwe bakabona! Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri! Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka! Omusango guli ku mmwe: Mubadde kyambika e Mizupa, era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
2 "The rebels have gone deep into slaughter, but I will discipline all of them. Abajeemu bamaliridde okutta, naye ndibabonereza bonna.
3 I know Ephraim, and Israel is not hidden from me; for now, Ephraim, you have prostituted yourself, and Israel is defiled. Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu, so ne Isirayiri tankisibwa. Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya, ne Isirayiri yeeyonoonye.
4 "Their deeds will not let them return to their Father, for a spirit of prostitution is within them, and they do not know our Father. Ebikolwa byabwe tebibaganya kudda eri Katonda waabwe, kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe, so tebamanyi Mukama.
5 The pride of Israel testifies against him; Israel and Ephraim stumble in their sin; Judah also stumbles with them. Amalala ga Isirayiri gabalumiriza; Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe; ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
6 With their flocks and their herds they will go to seek our Father, but they will not find him; he has withdrawn from them. Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe okunoonya Mukama, tebalimulaba; abaviiridde, abeeyawuddeko.
7 They have dealt faithlessly with our Father, for they have borne illegitimate children. Now the new moon will devour them along with their fields. Tebabadde beesigwa eri Mukama; bazadde abaana aboobwenzi. Embaga ez’omwezi ogwakaboneka kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.
8 "Blow the horn in Gibeah, the trumpet in Ramah. Sound the battle cry at Beth-aven; look behind you, Benjamin! Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea, n’ekkondeere mu Laama. Muyimuse amaloboozi e Besaveni; mutukulembere mmwe Benyamini.
9 Ephraim will become a desolation in the day of punishment; among the tribes of Israel I make known what is sure. Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw’okubonerezebwa. Nnangirira ebiribaawo mu bika bya Isirayiri.
10 The princes of Judah have become like those who move a boundary stone; on them I will pour out my wrath like water. Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo abajjulula ensalo, era ndibafukako obusungu bwange ng’omujjuzo gw’amazzi.
11 Ephraim is oppressed, crushed in judgment, because he was intent on pursuing worthless idols. Efulayimu anyigirizibwa, era omusango gumumezze, kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12 So I am like a moth to Ephraim, and like dry rot to the house of Judah. Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu, n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.
13 "Ephraim saw his own sickness, Judah saw his open sore; so Ephraim ran to Assyria, appealing to its great king. But that king can't cure you, or heal your festering wound. “Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe, ne Yuda n’alaba ekivundu kye, Efulayimu n’addukira mu Bwasuli, n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu. Naye tasobola kubawonya newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14 For I will be like a lion to Ephraim, and like a young lion to the house of Judah. I myself will tear and go away; I will carry off, and no one will rescue. Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu, era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda. Ndibataagulataagula ne ŋŋenda; ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15 I will go back again to my place, until they acknowledge their guilt and seek my face; in their distress they will earnestly seek me." Ndiddayo mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe. Balinnoonya, mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]