Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hosea 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hear the word of our Father, children of Israel, for he has a case against the inhabitants of the land: there is no faithfulness, no covenant love, and no knowledge of him in the land. Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri, kubanga Mukama abalinako ensonga mmwe abatuula mu nsi. “Obwesigwa n’okwagala Katonda, n’okumumanya bikendedde mu nsi.
2 There is only swearing and lying, murder and stealing and adultery; they break all bounds, and bloodshed follows bloodshed. Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta, n’okubba, n’okukola eby’obwenzi; bawaguza, era bayiwa omusaayi obutakoma.
3 Therefore the land mourns, and all who live in it waste away, together with the wild animals and the birds in the sky; even the fish in the sea are swept away. Ensi kyeneeva ekaaba, ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa; n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa, n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.
4 Yet let no one accuse, let no one lay blame, for your people are like those who quarrel with the priest. “Naye temuloopagana, so tewabaawo muntu avunaana munne, kubanga ensonga ngivunaana gwe kabona.
5 You stumble by day, and the prophet stumbles with you by night; and I will destroy your mother. Wakola ebibi emisana n’ekiro, ne bannabbi ne babikolera wamu naawe; kyendiva nzikiriza maama wo.
6 My people are destroyed for lack of knowledge. Because you have rejected knowledge, I reject you as my priest; because you have forgotten the law of your Father, I also will forget your children. Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya. “Kyemunaava mulema okubeera bakabona bange; era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo, nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.
7 The more they increased, the more they sinned against me; I will turn their glory into shame. Gye beeyongera okuba abangi, gye baakoma n’okukola ebibi; baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
8 They feed on the sin of my people and set their hearts on their wrongdoing. Bagaggawalira ku bibi by’abantu bange, era basemba okwonoona kwabwe.
9 So it will be: like people, like priest. I will punish them for their ways and repay them for their deeds. Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona: ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe, era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.
10 They will eat but not be satisfied; they will give themselves to prostitution but not multiply, because they have forsaken our Father and abandoned his ways. “Balirya naye tebalikkuta, balikola ebibi eby’obwenzi kyokka tebalyeyongera bungi, kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo
11 Prostitution, wine, and new wine take away good sense. eri obwenzi, wayini omukadde n’omusu, ne bibamalamu okutegeera.
12 My people consult a piece of wood, and their staff gives them oracles; for a spirit of prostitution has led them astray, and they have played the prostitute, forsaking their Father. Abantu bange beebuuza ku kikonge ky’omuti, ne baddibwamu omuti. Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
13 They sacrifice on the mountaintops and burn offerings on the hills, under oak, poplar, and terebinth, because their shade is pleasant. So your daughters turn to prostitution and your brides to adultery. Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi, ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi, wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera awali ekisiikirize ekirungi. Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya, ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.
14 I will not punish your daughters when they turn to prostitution, nor your brides when they commit adultery; for the men themselves go off with prostitutes and offer sacrifices with the temple prostitutes—a people without understanding comes to ruin. “Siribonereza bawala bammwe olw’okubeera bamalaaya, newaakubadde baka baana bammwe okukola eby’obwenzi, kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya, ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo; abantu abatategeera balizikirira.
15 Though you, Israel, play the prostitute, let Judah not become guilty. Do not go to Gilgal; do not go up to Beth-aven; and do not swear, 'As surely as our Father lives.' “Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda, omusango guleme okuba ku Yuda. Togenda Girugaali, newaakubadde okwambuka e Besaveni. Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
16 Israel is stubborn, like a stubborn heifer. Can our Father now pasture them like a lamb in an open meadow? Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima ng’ennyana endalu. Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
17 Ephraim is joined to idols; leave him alone. Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi, mumuleke abeere yekka.
18 When their drink is gone, they give themselves to prostitution; their rulers dearly love disgrace. Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako, beeyongera mu bwamalaaya; n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:
19 A wind has wrapped them in its wings, and they will be ashamed because of their altars. Embuyaga kyeziriva zibatwala, ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]