Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 A wise son heeds his father's instruction, but a scoffer does not listen to rebuke. Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe, naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.
2 From the fruit of his mouth a person enjoys good things, but the appetite of the treacherous is for violence. Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke, naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.
3 Whoever guards his mouth protects his life, but one who opens his lips wide comes to ruin. Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe, naye oyo amala googera, alizikirira.
4 The lazy person craves and gets nothing, but the appetite of the diligent is richly satisfied. Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna, naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.
5 The righteous hates falsehood, but the wicked brings shame and disgrace. Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba, naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa.
6 Righteousness guards the one whose way is blameless, but wickedness overthrows the sinner. Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu, naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.
7 One person pretends to be rich, yet has nothing; another pretends to be poor, yet has great wealth. Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina, ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.
8 A person's wealth may ransom his life, but the poor hears no threat. Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula, naye omwavu talina ky’atya.
9 The light of the righteous shines joyfully, but the lamp of the wicked will be snuffed out. Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo, naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.
10 Arrogance breeds nothing but strife, but wisdom is with those who seek advice. Amalala gazaala buzaazi nnyombo, naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.
11 Wealth gained by fraud dwindles away, but whoever gathers little by little makes it grow. Ensimbi enkumpanye ziggwaawo, naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.
12 Hope deferred makes the heart sick, but desire fulfilled is a tree of life. Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima, naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.
13 Whoever despises the word brings ruin on himself, but the one who reveres the commandment will be rewarded. Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana, naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.
14 The teaching of the wise is a fountain of life, turning a person away from the snares of death. Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu, era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.
15 Good sense wins favor, but the way of the treacherous is their undoing. Okutegeera okulungi kuleeta okuganja, naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu.
16 Every prudent person acts with knowledge, but a fool flaunts his foolishness. Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza, naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.
17 A wicked messenger falls into trouble, but a faithful envoy brings healing. Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana, naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.
18 Poverty and shame come to whoever ignores discipline, but the one who heeds correction is honored. Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu, naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.
19 A desire fulfilled is sweet to the soul, but turning away from evil is detestable to fools. Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima, naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.
20 Whoever walks with the wise grows wise, but the companion of fools suffers harm. Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala, naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.
21 Disaster pursues sinners, but good rewards the righteous. Emitawaana gigoberera aboonoonyi, naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu.
22 A good person leaves an inheritance to his grandchildren, but the sinner's wealth is stored up for the righteous. Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika, naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.
23 The unplowed field of the poor could yield abundant food, but it is swept away for lack of justice. Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi, naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.
24 Whoever withholds the rod hates his son, but the one who loves him is diligent to discipline him. Atakozesa kaggo akyawa omwana we, naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.
25 The righteous eats to his heart's content, but the belly of the wicked goes hungry. Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta, naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]