Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Whoever loves discipline loves knowledge, but whoever hates correction is senseless. Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi; naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.
2 A good man obtains favor from our Father, but he condemns the man who schemes evil. Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama, naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.
3 No one is established by wickedness, but the root of the righteous will never be moved. Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu, naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.
4 A wife of noble character is her husband's crown, but one who brings shame is like decay in his bones. Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we, naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.
5 The plans of the righteous are just, but the advice of the wicked is deceitful. Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima, naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.
6 The words of the wicked lie in wait for blood, but the speech of the upright rescues the innocent. Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi, naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.
7 The wicked are overthrown and are no more, but the house of the righteous will stand. Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala, naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.
8 A person is praised according to their good sense, but one with a warped mind is despised. Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa, naye eby’omusirusiru bimunyoomesa.
9 Better to be lowly and have a servant than to pretend to greatness and go hungry. Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera, asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.
10 The righteous care for the needs of their animals, but even the mercy of the wicked is cruel. Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye, naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.
11 Whoever works their land will have plenty of food, but whoever chases worthless pursuits lacks sense. Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi, naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.
12 The wicked crave the plunder of evil men, but the root of the righteous yields fruit. Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe, naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera.
13 An evil man is trapped by his sinful talk, but the righteous escapes from trouble. Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana, naye omutuukirivu awona akabi.
14 From the fruit of their words a person is filled with good things, and the work of their hands comes back to reward them. Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke, n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.
15 The way of a fool seems right in his own eyes, but the wise listen to advice. Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye, naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.
16 A fool shows his anger at once, but the prudent overlook an insult. Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe, naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.
17 Whoever speaks the truth gives honest testimony, but a false witness tells lies. Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu, naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.
18 Reckless words pierce like a sword, but the tongue of the wise brings healing. Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi, naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.
19 Truthful lips endure forever, but a lying tongue lasts only a moment. Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna, naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.
20 Deceit fills the hearts of those who plot evil, but joy belongs to those who promote peace. Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi, naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.
21 No harm overtakes the righteous, but the wicked are full of trouble. Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu, naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana.
22 Lying lips are detestable to our Father, but those who act faithfully are his delight. Mukama akyawa emimwa egirimba, naye asanyukira ab’amazima.
23 The prudent keep their knowledge to themselves, but the heart of fools blurts out foolishness. Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi, naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.
24 Diligent hands will rule, but laziness ends in forced labor. Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi, naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.
25 Anxiety weighs down the heart, but a kind word cheers it up. Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika, naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.
26 The righteous guide their neighbor, but the way of the wicked leads them astray. Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye, naye ekkubo ly’ababi libabuza.
27 The lazy do not roast their game, but the diligent prize their possessions. Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe, naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.
28 In the path of righteousness there is life, and along that way there is no death. Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu, era mu kkubo eryo temuli kufa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]