Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 62 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 For Zion's sake I will not keep silent, and for Jerusalem's sake I will not rest, until her righteousness shines out like the dawn, and her salvation like a blazing torch. Ku lwa Sayuuni ssiisirike, era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule, okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala, obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.
2 The nations will see your righteousness, and all kings your glory; and you will be called by a new name that our Father himself will give you. Amawanga galiraba obutuukirivu bwo, era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo. Oliyitibwa erinnya epya akamwa ka Mukama lye kalikuwa.
3 You will be a crown of beauty in the hand of our Father, a royal crown in the hand of our Father. Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama, enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
4 No longer will they call you Forsaken, nor name your land Desolate; but you will be called Hephzibah—My Delight Is in Her—and your land Beulah—Married; for our Father's heart delights in you, and your land will be married. Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa, ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika. Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira, n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa. Kubanga Mukama akusanyukira era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.
5 For as a young man marries a young woman, so will your sons marry you; and as a bridegroom rejoices over his bride, so will your Father rejoice over you. Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira. Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza, bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.
6 On your walls, Jerusalem, I have posted watchmen; all day and all night they will never be silent. You who remind our Father, give yourselves no rest, Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro. Mmwe abakoowoola Mukama temuwummula.
7 and give him no rest until he establishes Jerusalem and makes her praised throughout the earth. Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi era ng’agifudde ettendo mu nsi.
8 By his right hand Our Father has sworn, and by the arm of his strength: "Never again will I hand your grain to your enemies as food, nor will foreigners drink the new wine you toiled for; Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo era n’omukono gwe ogw’amaanyi: “Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo, era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.
9 but those who harvest it will eat it and praise our Father, and those who gather it will drink it in the courts of my sanctuary." Naye abo abagikungula be baligirya ne batendereza Mukama, n’abo abanoga emizabbibu be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”
10 Pass through, pass through the gates! Prepare the way for the people. Build up, build up the highway; clear away the stones; raise a banner over the peoples. Muyiteemu, muyite mu miryango mugende! Muzimbe oluguudo, mulugyemu amayinja. Muyimusize amawanga ebbendera.
11 Look, our Father has proclaimed to the ends of the earth: Say to daughter Zion, "Look, your salvation is coming; look, his reward is with him, and his payment before him." Laba Mukama alangiridde eyo yonna ensi gy’ekoma, nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba omulokozi wo ajja, Laba aleeta n’ebirabo bingi, n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”
12 And they will be called The Holy People, The Redeemed of our Father; and you will be called Sought Out, A City Not Forsaken. Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu, Abanunule ba Mukama, ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala, Ekibuga Ekitakyali ttayo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]