Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 61 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The Spirit of the Sovereign Father is upon me, because our Father has anointed me to bring good news to the poor. He has sent me to bind up the brokenhearted, to proclaim freedom for the captives and release for those bound in darkness, Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera.
2 to proclaim the year of our Father's favor and the day of our Father's vindication, to comfort all who mourn, Okulangirira omwaka gwa Mukama ogw’okulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
3 to provide for those who mourn in Zion—to give them a crown of beauty instead of ashes, the oil of gladness instead of mourning, a garment of praise instead of a spirit of despair; so they will be called oaks of righteousness, the planting of our Father, that he may be glorified. Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu, n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku. Ekyambalo ky’okutendereza mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.
4 They will rebuild the ancient ruins and raise up the places long devastated; they will restore the ruined cities, desolate for many generations. Baliddamu bazimbe ebyali bizise, balirongoosa ebibuga ebyali byerabirwa edda.
5 Strangers will tend your flocks; foreigners will be your plowmen and vineyard workers. Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe, abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.
6 But you will be called the priests of our Father; you will be named the ministers of our Father. You will feed on the wealth of the nations, and in their riches you will boast. Era muyitibwe bakabona ba Mukama, abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama, mulirya obugagga bw’amawanga, era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.
7 Instead of your shame you will receive a double portion, and instead of disgrace you will rejoice in your inheritance; so you will possess a double portion in your land, and everlasting joy will be yours. Mu kifo ky’ensonyi, abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri. Mu kifo ky’okuswala basanyuke olw’ebyo bye balifuna era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri, essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
8 "For I, your Father, love justice; I hate robbery and wrongdoing. In my faithfulness I will reward my people and make an everlasting covenant with them. “Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya, nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu. Mu bwesigwa bwange ndibasasula era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
9 Their children will be known among the nations and their descendants among the peoples; all who see them will acknowledge that they are the children our Father has blessed." N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga n’abaana baabwe eri abantu. Abo bonna abalibalaba balibamanya, nti bantu Mukama be yawa omukisa.”
10 I will rejoice greatly in our Father; my soul will leap for joy in our Father. For he has clothed me with garments of salvation and covered me with a robe of righteousness, as a bridegroom adorns his head like a priest, and as a bride adorns herself with her jewels. Nsanyukira nnyo mu Mukama, emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange. Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu, ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona, ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.
11 For as the soil sends up its shoots, and as a garden causes what is sown to spring up, so the Sovereign Father will cause righteousness and praise to spring up before all the nations. Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera, era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka, bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka, ensi zonna zikirabe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]