Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 60 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Arise, shine, for your light has come, and the glory of our Father has risen upon you. “Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
2 For darkness will cover the earth, and thick darkness the peoples; but our Father will rise upon you, and his glory will be seen upon you. Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna, naye ggwe Mukama alikwakirako era ekitiibwa kye kikulabikeko.
3 Nations will come to your light, and kings to the brightness of your dawning. Amawanga galijja eri omusana gwo ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.
4 Lift up your eyes all around and see: they all gather together, they come to you; your sons come from far away, and your daughters are carried on the hip. “Yimusa amaaso go olabe; abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli batabani bo abava ewala ne bawala bo abasituliddwa mu mikono.
5 Then you will see and be radiant; your heart will throb and swell, because the abundance of the sea will turn toward you, the wealth of the nations will come to you. Kino oli wakukirabako ojjule essanyu, omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza. Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe, era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
6 A multitude of camels will cover you, the young camels of Midian and Ephah; all those from Sheba will come, bearing gold and frankincense, and they will proclaim the praises of our Father. Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe, eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa. Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane okulangirira ettendo lya Katonda.
7 All the flocks of Kedar will be gathered to you, the rams of Nebaioth will minister to you; they will be offered on my altar and accepted, and I will glorify my glorious house. N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa, endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza. Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.
8 Who are these that fly like a cloud, and like doves to their windows? “Bano baani abaseyeeya nga ebire, ng’amayiba agadda mu bisu byago?
9 Surely the coastlands wait for me, the ships of Tarshish first, to bring your sons from far away, with their silver and gold, for the name of your Father, the Holy One of Israel, because he has glorified you. Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze; ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde bireete batabani bammwe okubaggya ewala awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza, olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri, kubanga akufudde ow’ekitiibwa.
10 Foreigners will build up your walls, and their kings will serve you; for in my wrath I struck you, but in my favor my heart was moved with compassion for you. “Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo, era bakabaka baabwe bakuweereze; Olw’obusungu bwange, nakukuba, naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 Your gates will stand open continually; day and night they will not be shut, so that the wealth of the nations may be brought to you, with their kings led in procession. Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo, emisana n’ekiro tegiggalwenga, abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
12 For the nation and kingdom that will not serve you will perish; those nations will be utterly laid waste. Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira. Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.
13 The glory of Lebanon will come to you—the cypress, the plane, and the pine together—to beautify the place of my sanctuary; and I will glorify the place of my feet. “Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, emiti egy’ettendo egy’enfugo, omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange, ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 The children of those who oppressed you will come bowing before you; all who despised you will bow down at your feet. They will call you the City of our Father, the Zion of the Holy One of Israel. Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira; era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo. Balikuyita kibuga kya Katonda, Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.
15 Though you have been forsaken and hated, with no one passing through, I will make you an everlasting pride, a joy from generation to generation. “Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa, nga tewali n’omu akuyitamu, ndikufuula ow’ettendo, essanyu ery’emirembe gyonna.
16 You will drink the milk of nations, and nurse at the breast of kings; and you will know that I, your Father, am your Savior and your Redeemer, the Mighty One of Jacob—your Father. Olinywa amata ag’amawanga. Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga, era olimanyira ddala nti, Nze, nze Mukama, nze Mulokozi wo era Omununuzi wo, ow’Amaanyi owa Yakobo.
17 Instead of bronze I will bring gold, instead of iron I will bring silver, instead of wood, bronze, and instead of stones, iron. I will make peace your governor and righteousness your taskmaster. Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu, mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza, mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma. Emirembe gye girifuuka omufuzi wo n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
18 Violence will no longer be heard in your land, nor ruin and destruction within your borders; but you will call your walls Salvation and your gates Praise. Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo, wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo. Ebisenge byo olibiyita Bulokozi, Era n’enzigi zo, Kutendereza.
19 The sun will no longer be your light by day, nor will the moon give you its light; but our Father will be your everlasting light, and your Father your glory. Enjuba si yeenekumulisizanga emisana, oba omwezi okukumulisizanga ekiro. Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe, era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
20 Your sun will no longer set, and your moon will not wane; for our Father will be your everlasting light, and the days of your mourning will be ended. Enjuba yo terigwa nate, n’omwezi gwo tegulibula; Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.
21 Your people will all be righteous; they will possess the land forever—the branch of my planting, the work of my hands, that I may be glorified. Abantu bo babeere batuukirivu, ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe. Ekisimbe kye nnesimbira; omulimu gw’emikono gyange, olw’okulaga ekitiibwa kyange.
22 The least one will become 1,000, and the smallest a mighty nation. I am your Father; when the time is right, I will make it happen quickly. Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi, n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi. Nze Mukama, ndikyanguya mu biseera byakyo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]