Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 59 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Look, our Father's hand is not too short to save, nor his ear too dull to hear. Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola, era si muzibe wa matu nti tawulira.
2 But your wrongs have separated you from your Father, and your sins have hidden his face from you, so that he does not hear. Naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bubaawudde ku Katonda wammwe. Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge, n’atawulira.
3 For your hands are defiled with blood, and your fingers with sin; your lips have spoken lies, your tongue mutters wickedness. Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu, emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba, n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.
4 No one calls for justice, and no one pleads with honesty. They trust in emptiness and speak lies; they conceive trouble and give birth to evil. Tewali awaaba bya nsonga so tewali awoza mu mazima; Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba, ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
5 They hatch the eggs of vipers and weave the spider's web; whoever eats their eggs dies, and when one is crushed, a viper breaks out. Baalula amagi ag’essalambwa ne balanga ewuzi za nnabbubi: alya ku magi gaabwe afa n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
6 Their webs cannot become clothing, and they cannot cover themselves with what they make. Their works are works of wrongdoing, and their hands are full of violence. Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba, ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi! Tebasobola kuzeebikka. Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.
7 Their feet run to evil, and they hurry to shed innocent blood. Their thoughts are thoughts of wrongdoing; ruin and destruction lie along their every road. Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango. Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi, n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
8 The way of peace they do not know, and there is no justice in their ways. They have made their paths crooked; no one who walks in them knows peace. Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe. Beekubidde amakubo, tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.
9 Therefore justice is far from us, and righteousness does not reach us. We wait for light, but there is only darkness; for brightness, but we walk in gloom. Amazima gatuli wala, n’obutuukirivu tetubufunye. Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko, we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 We grope along the wall like the blind; like those without eyes we grope. We stumble at noon as if in twilight; among the strong we are like the dead. Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe, ne tukwatakwata ng’abatalina maaso; twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi ne tuba ng’abafu.
11 We all growl like bears and moan mournfully like doves. We wait for justice, but there is none; for salvation, but it stays far from us. Ffenna tuwuluguma ng’eddubu ne tusinda nga bukaamukuukulu. Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere, n’obulokozi butuliwala.
12 For our rebellions are many before you, and our sins testify against us. Our rebellions are with us, and our wrongdoing we know: Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go era ebibi byaffe bitulumiriza, kubanga ebisobyo byaffe biri naffe, era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13 rebelling and denying our Father, turning back from following our Father, speaking oppression and revolt, conceiving and muttering lying words from the heart. obujeemu n’enkwe eri Mukama era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe. Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza, okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.
14 So justice is driven back, and righteousness stands far off; for truth has stumbled in the public square, and integrity cannot enter. Obwenkanya buddiridde n’obutuukirivu ne bubeera wala. Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira.
15 Truth is missing, and whoever turns from evil is plundered. Our Father saw it and was displeased that there was no justice. Tewali w’oyinza kusanga mazima, era oyo ava ku kibi asuulibwa. Mukama yakiraba n’atasanyuka kubanga tewaali bwenkanya.
16 He saw that there was no one, and was appalled that no one would intervene; so his own arm brought salvation, and his righteousness upheld him. N’alaba nga tewali muntu, ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira. Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.
17 He put on righteousness like a breastplate, and a helmet of salvation on his head; he clothed himself in garments of vindication and wrapped himself in zeal like a cloak. Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba, era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe; n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.
18 According to their deeds, so he will repay: wrath to his adversaries, repayment to his enemies; to the distant coastlands he will give them what they deserve. Ng’ebikolwa byabwe bwe biri bwalisasula ekiruyi ku balabe be, n’abamukyawa alibawa empeera yaabwe, n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.
19 So they will fear the name of our Father from the west, and his glory from the rising of the sun; for he will come like a rushing river, driven by the wind of our Father. Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba, kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi, omukka gwa Mukama gwe gutwala.
20 Then the Redeemer will come to Zion, to those in Jacob who turn from their sins, declares our Father. “Era Omununuzi alijja mu Sayuuni, eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,” bw’ayogera Mukama.
21 "As for me, this is my covenant with them," says our Father: "My Spirit who is upon you, and my words that I have put in your mouth, will not depart from your mouth, or from the mouth of your children, or from the mouth of your children's children," says our Father, "from now on and forever." “Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]