Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 58 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "Shout aloud, do not hold back; raise your voice like a trumpet. Declare to my people their rebellion, to the house of Jacob their sins. Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka, tokisirikira. Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 "Yet day after day they seek me and delight to know my ways, like a nation that does what is right and has not forsaken the justice of their Father. They ask me for righteous judgments; they delight to draw near to our Father. Kubanga bannoonya buli lunaku era beegomba okumanya amakubo gange, nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe. Bambuuza ensala ennuŋŋamu, ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
3 Why have we fasted, and you have not seen it? Why have we humbled ourselves, and you take no notice?' Look—on the day of your fast you pursue your own desire, and you drive all your workers hard. Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako? Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?” Musooke mulabe, ennaku ze musiiba muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe, musigala munyigiriza abakozi bammwe.
4 "Look—you fast only to quarrel and to fight and to strike with a wicked fist. You cannot fast as you do today and expect your voice to be heard in heaven. Njagala mulabe. Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo, n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde. Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
5 Is this the kind of fast I choose, a day for a person to humble himself? Is it only to bow the head like a reed, and to spread coarse cloth and ashes beneath him? Is this what you call a fast, a day pleasing to your Father? Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana? Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako? Kukutamya bukutamya mutwe, kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu? Okwo kwe muyita okusiiba, olunaku olusiimibwa Mukama?
6 "Is not this the fast I choose: to loosen the chains of wickedness, to untie the cords of the yoke, to set the oppressed free, and to break every yoke? Kuno kwe kusiiba kwe nalonda; okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu, n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo, n’okuta abo abanyigirizibwa, n’okumenya buli kikoligo?
7 Is it not to share your bread with the hungry, and to bring the homeless poor into your house; when you see the naked, to clothe him, and not to hide yourself from your own flesh and blood? Si kugabira bayala ku mmere yo, n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo; bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
8 "Then your light will break forth like the dawn, and your healing will spring up quickly; your righteousness will go before you, and my glory will be your rear guard." Awo omusana gwo gulyoke guveeyo gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu; obutuukirivu bwo bukukulembere, era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
9 Then you will call, and I will answer; you will cry for help, and I will say, 'Here I am.' If you remove the yoke from among you, the pointing finger and malicious talk, Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu; olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano. “Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;
10 "if you pour yourself out for the hungry and satisfy the desire of the afflicted, then your light will rise in the darkness, and your night will become like noonday. bw’olyewaayo okuyamba abayala n’odduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
11 I will guide you continually, and satisfy you in scorched places; I will strengthen your bones. You will be like a watered garden, like a spring of water whose waters never fail. Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, amagumba go aligongeramu amaanyi; era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi, era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
12 Your people will rebuild the ancient ruins; you will raise up the age-old foundations. You will be called Repairer of the Breach, Restorer of Streets to Live In. N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika era baddemu okuzimba emisingi egy’edda. Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka, omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.
13 "If you keep your foot from breaking the Sabbath, from pursuing your own desire on my holy day; if you call the Sabbath a delight and honor my holy day; if you honor it by not going your own way, not pursuing your own desire or speaking idle words, “Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti, obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu, bw’onooluyitanga olw’essanyu era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa, singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,
14 then you will find your delight in me, and I will make you ride on the heights of the land and feed you with the heritage of your father Jacob—for the mouth of your Father has spoken." awo olifuna essanyu eriva eri Mukama era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo” Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]