Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 57 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The righteous one perishes, and no one takes it to heart; faithful men are taken away, and no one understands that the righteous are spared from the evil to come. Abantu abatuukirivu bazikirira, naye tewali akirowoozako n’akatono. Abantu abeewaddeyo eri Katonda batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako. Kubanga omutuukirivu aggyibwawo olw’akabi akagenda okujja.
2 He enters into peace; they rest on their beds—everyone who walks in integrity. Ayingira mu mirembe n’afuna okuwummulira mu kufa kwe, ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.
3 But you—come here, you children of a sorceress, you offspring of an adulterer and a prostitute! “Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.
4 Who are you mocking? Against whom do you open wide your mouth and stick out your tongue? Are you not children of rebellion, offspring of falsehood, Muzannyira ku ani? Ani gwe mukongoola ne mumusoomooza? Temuli baana ba bujeemu, ezzadde eryobulimba?
5 you who burn with lust among the oaks, under every green tree, who slaughter your children in the valleys, under the clefts of the rocks? Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti na buli wansi wa buli muti oguyimiridde; mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu ne wansi w’enjatika z’enjazi.
6 Among the smooth stones of the valley is your portion; yes, they are your lot. To them you have poured out a drink offering, you have brought a grain offering. Should I be satisfied with all this? Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu gosinziza mu biwonvu, abo be babo, obusika bwo; abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa era n’ebiweebwayo eby’empeke. Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?
7 On a high and lofty mountain you have set your bed; there too you went up to offer sacrifice. Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
8 Behind the door and the doorpost you have set up your symbol. Deserting me, you uncovered your bed; you went up to it and made it wide. You made a covenant with them; you loved their bed, you gazed on their nakedness. Emabega w’enzigi zammwe we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza. Mwandeka ne mukola eby’obuwemu mu bitanda byammwe ebigazi. Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
9 You journeyed to the king with oil and heaped up your perfumes; you sent your envoys far away, and sent them down even to the realm of the dead. Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo, n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda, kumpi batuuke n’emagombe.
10 You were wearied by the length of your way, yet you did not say, "It is hopeless." You found renewed strength, and so you did not grow faint. Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo naye teweegamba nako nti, ‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’ Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.
11 Whom did you so dread and fear that you lied, and did not remember me, and gave it no thought? Have I not been silent for so long that you no longer fear me? “B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza, n’olyoka olimba, nze n’otonzijukira n’akatono wadde okundowoozaako? Olw’okubanga nsirise n’esikunyega ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.
12 I will expose your righteousness and your deeds, but they will not profit you. Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola, naye tebigenda kukugasa.
13 When you cry out, let your collection of idols deliver you! The wind will carry them all off, a breath will take them away. But whoever takes refuge in me will possess the land and inherit my holy mountain. Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi, leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule; naye empewo eribatwala, omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna. Naye oyo anfuula ekiddukiro kye alirya ensi era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”
14 And it will be said: "Build up, build up, prepare the way! Remove every obstacle from my people's path." Era kiryogerwa nti, “Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo! Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”
15 For this is what the high and exalted One says—our Father, who lives forever, whose name is Holy: "I dwell in the high and holy place, and also with the one who is contrite and lowly in spirit, to revive the spirit of the lowly and to revive the heart of the contrite. Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe, ow’erinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abakkakkamu, era n’ogw’abo ababoneredde.
16 For I will not keep fighting forever, nor will I always be angry; for then the spirit would grow faint before me—the very breath of life that I made. Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe era siribasunguwalira bbanga lyonna. Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba, emmeeme y’omuntu nze gye nakola.
17 Because of his sinful greed I was angry; I struck him, I hid my face, and I was angry—yet he kept turning away, following the path of his own heart. Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu. Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
18 I have seen his ways, but I will heal him; I will lead him and restore comfort to him and to those who mourn for him, Nalaba by’akola, naye ndimuwonya. Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.
19 bringing praise to their lips. Peace, peace to the far and to the near," says our Father, "and I will heal them." Mirembe, era mirembe, eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi, era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.
20 But the wicked are like the tossing sea, which cannot be still, whose waters churn up mire and mud. Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse, eteyinza kutereera, ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
21 "There is no peace," says our Father, "for the wicked." “Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]