Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 56 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This is what our Father says: Keep justice and do what is right, for my salvation is coming soon, and my righteousness is about to be revealed. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mukolenga obwenkanya era ebituufu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n’obutuukirivu bwange bunatera okubikkulibwa.
2 Blessed is the one who does this, the person who holds firmly to it: who keeps the Sabbath without profaning it, and keeps from doing any evil. Alina omukisa omuntu akola ekyo, n’omwana w’omuntu akinyweererako. Akwata ssabbiiti obutagyonoona, n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3 Let not the foreigner who has joined himself to our Father say, "Our Father will surely separate me from his people"; and let not the eunuch say, "I am only a dry tree." Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti, “Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,” so n’omulaawe okugamba nti, “Ndi muti mukalu.”
4 For this is what our Father says: "To the eunuchs who keep my Sabbaths, who choose what pleases me and hold fast to my covenant, Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa, ne bakuuma endagaano yange,
5 to them I will give within my house and within my walls a memorial and a name better than sons and daughters; I will give them an everlasting name that will not be cut off. amannya gaabwe galijjukirwa mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Ndibawa erinnya eritaliggwaawo ery’emirembe n’emirembe.
6 And the foreigners who join themselves to our Father, to minister to him, to love the name of our Father, and to be his servants—everyone who keeps the Sabbath without profaning it and holds fast to my covenant, N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama, okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama era n’okubeera abaweereza be, abakwata ssabbiiti ne batagyonoona era ne banyweza endagaano yange,
7 these I will lead up to my holy mountain, and give them joy in my house of prayer; their sacrifices and burnt offerings will be welcome on my altar, since my house will be named a house of prayer for all peoples. bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu. Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange. Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu eri amawanga gonna.”
8 This is the declaration of the Sovereign Father, who gathers the outcasts of Israel: I will gather still others to them, besides those already gathered." Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti, “Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
9 All you beasts of the field, come to devour—all you beasts in the forest. Mukama agamba amawanga amalala okujja ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.
10 Israel's watchmen are blind, all of them; they know nothing. They are all silent dogs that cannot bark, dreaming, lying down, loving to sleep. Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso, bonna tebalina magezi, bonna mbwa ezitasobola kuboggola, zibeera mu kuloota nakugalaamirira ezaagala okwebaka obwebasi.
11 The dogs have a fierce appetite; they never have enough. They are shepherds with no understanding; they have all turned to their own way, each to his own gain, every one of them. Embwa ezirina omululu omuyitirivu ezitakkuta. Basumba abatayinza kutegeera, bonna abakyamye mu makubo gaabwe; buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12 "Come," they say, "let me fetch wine; let us drink our fill of strong drink. And tomorrow will be like today, great beyond all measure." Bagambagana nti, “Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire. N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero, oba n’okusingawo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]