Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 63 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Who is this coming from Edom, in crimson-stained garments from Bozrah, this one majestic in his apparel, striding in his great strength? "It is I, proclaiming righteousness, mighty to save." Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula anekaanekanye mu ngoye emyufu. Ani ono ali mu ngoye za bakabaka akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye? “Ye nze alangirira obutuukirivu, ow’amaanyi okulokola.”
2 Why is your apparel red, and your garments like one who treads in the winepress? Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu ng’eby’omusogozi w’omu ssogolero lya wayini?
3 "I have trodden the winepress alone, and from the peoples no one was with me; I crushed them in my anger and trampled them in my wrath; their lifeblood splattered on my garments, and I stained all my apparel. “Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu, tewali n’omu yajja kunnyambako. Nabalinnyiririra mu busungu era omusaayi gwabwe ne gusammukira ku ngoye zange, era guyiise ku byambalo byange.
4 For the day of reckoning was in my heart, and the year of my redeemed had come. Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse, olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.
5 I looked, but there was no one to help; I was appalled that no one upheld me; so my own arm brought me salvation, and my wrath upheld me. Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba, newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako. Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi, era obusungu bwange ne bunnyweza.
6 I trampled the peoples in my anger; I made them drunk in my wrath, and I poured out their lifeblood on the ground." Mu busungu bwange nalinnyirira abantu, mu kiruyi kyange ne mbatamiiza, omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”
7 I will tell of the covenant love of our Father, the praises of him, according to all that he has done for us, and the great goodness he has shown to the house of Israel, according to his compassion, according to his abundant covenant love. Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama, ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa, okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde; weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri, okusinziira ku kisa kye, okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.
8 For he said, "Surely they are my people, children who will not be false." And he became their Savior. Yagamba nti, “Ddala bantu bange, abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,” era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.
9 In all their affliction he was afflicted, and the messenger of his presence saved them; in his love and in his compassion he redeemed them; he lifted them up and carried them all the days of old. Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna, era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya. Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula; yabayimusa n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
10 But they rebelled and grieved his Holy Spirit; so he turned and became their enemy, and he himself fought against them. Naye baajeema ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu, kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe era ye kennyini n’abalwanyisa.
11 Then he recalled the days of old, of Moses and of his people. Where is the one who led them up from the sea, with his flock's shepherds? Where is the one who placed his Holy Spirit among them, Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda, ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be; aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye. Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
12 who stretched out his glorious arm at the right hand of Moses, who divided the waters before them to make for himself an everlasting name, eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo, eyayawulamu amazzi nga balaba, yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?
13 who led them through the depths? Like a horse in the wilderness, they did not stumble. Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba? Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
14 Like livestock that go down into the valley, the Spirit of our Father gave them rest. So you led your people, to make for yourself a glorious name. Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde, Omwoyo wa Mukama yabawummuza. Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo okwekolera erinnya ery’ettendo.
15 Look down from heaven and see, from your holy and glorious dwelling. Where are your zeal and your mighty deeds? The stirring of your heart and your compassion are held back from me. Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe, ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu. Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa? Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.
16 For you are our Father, though Abraham does not know us and Israel does not acknowledge us; you are our Father; our Redeemer from ages past is your name. Ggwe Kitaffe, wadde nga Ibulayimu tatumanyi era nga Isirayiri tatutegeera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe okuva edda n’edda lye linnya lyo.
17 Why, our Father, do you let us wander from your ways and harden our heart, so that we do not fear you? Return for the sake of your servants, the tribes of your heritage. Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go, n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya? Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo amawanga g’omugabo gwo.
18 For a little while your holy people held possession; our enemies have trampled your sanctuary. Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono, naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.
19 We have become like those you have never ruled, like those not called by your name. Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda; naye bo tobafuganga, tebayitibwanga linnya lyo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]