Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 64 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Oh, that you would tear open the heavens and come down, that the mountains would quake at your presence, Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi, ensozi ne zikankana mu maaso go!
2 as fire sets brushwood ablaze and causes water to boil—to make your name known to your adversaries, so that the nations would tremble at your presence! Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku, oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera, ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo, n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
3 When you did awesome things that we did not expect, you came down, and the mountains quaked at your presence. Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira, wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
4 Since ancient times, no one has heard or perceived by ear, no eye has seen any besides you, who acts for the one who waits for him. Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde oba kutu kwali kutegedde, oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe, alwanirira abo abamulindirira.
5 You welcome those who gladly do what is right, who remember you as they walk in your ways. But you were angry, and we sinned; we have long been in our sins—can we be saved? Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu, abo abajjukira amakubo go. Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu. Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe, ddala tulirokolebwa?
6 We have all become like one who is unclean, and all our righteous deeds are like a filthy garment. We all wither like a leaf, and our sins, like the wind, sweep us away. Ffenna twafuuka batali balongoofu era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu. Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola, era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
7 There is no one who calls on your name, who rouses himself to take hold of you; for you have hidden your face from us and have handed us over to our sins. Tewali n’omu akoowoola linnya lyo oba eyewaliriza okukukwatako, kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go, era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.
8 But now, you are our Father; we are the clay, and you are our potter; we are all the work of your hand. Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
9 Do not be so terribly angry, our Father, and do not remember our sin forever. Look, please—we are all your people. Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda, tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna. Weewaawo, tutunuulire, tusaba, kubanga tuli bantu bo.
10 Your holy cities have become a wilderness; Zion has become a wilderness, Jerusalem a desolation. Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu, ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
11 Our holy and beautiful house, where our fathers praised you, has been burned with fire, and all that we treasured has become a ruin. Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro, era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.
12 After all this, will you hold back, our Father? Will you keep silent and afflict us so terribly? Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo? Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]