Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The word that Isaiah son of Amoz saw concerning Judah and Jerusalem. Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.
2 In the last days the mountain of our Father's house will be firmly established as the highest of the mountains, raised above the hills, and all the nations will stream to it. Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira, luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna, era amawanga gonna galilwolekera.
3 Many peoples will come and say, "Come, let us go up to the mountain of God, to his house, so he can teach us his ways and we can walk in his paths." For instruction will go out from Zion, and the word of our Father from Jerusalem. Abantu bangi balijja bagambe nti, Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo, alyoke atuyigirize amakubo ge, tulyoke tutambulire mu mateeka ge. Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni, era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
4 He will judge between the nations and settle disputes for many peoples. They will beat their swords into plowshares and their spears into pruning hooks; nation will not lift up sword against nation, nor will they train for war anymore. Alisala enkaayana z’amawanga, aliramula emisango gy’abantu bangi, era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi, n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo, so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
5 House of Jacob, come, let us walk in the light of our Father. Ggwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
6 For you have abandoned your people, the house of Jacob, because they are filled with influences from the east and with fortune-tellers like the Philistines, and they have made alliances with foreigners. Wayabulira abantu bo ab’ennyumba ya Yakobo, kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba, n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti, era basizza kimu ne bannamawanga.
7 Their land is full of silver and gold, with no end to their treasures; their land is full of horses, with no end to their chariots. Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu, n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo: ensi yaabwe ejjudde embalaasi, era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
8 Their land is full of idols; they bow down to the work of their hands, to what their own fingers have made. Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe, basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo, engalo zaabwe gwe zeekolera.
9 So mankind is brought low, and everyone is humbled—do not forgive them. Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa, omuntu wa kussibwa wansi. Mukama, tobasonyiwa!
10 Go into the rocks and hide in the dust from the dread of our Father and from the splendor of his majesty. Mugende mwekweke mu njazi, mwekweke mu binnya wansi mu ttaka, nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda, nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
11 The proud eyes of mankind will be brought low, and the arrogance of men will be humbled; our Father alone will be exalted in that day. Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu n’amalala ge lwe birizikirizibwa, era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.
12 For the Father of heaven's armies has a day in store against all that is proud and lofty, against all that is lifted up, so that it will be brought low, Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese eri abo bonna ab’amalala era abeewanise, eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde okwemanya n’okwewulira.
13 against all the cedars of Lebanon, lofty and lifted up, and against all the oaks of Bashan, Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni, emiwanvu emigulumivu, n’emivule gyonna egya Basani.
14 against all the high mountains and against all the lofty hills, Era n’ensozi zonna empanvu, n’obusozi bwonna obugulumivu.
15 against every high tower and against every fortified wall, Na buli mulongooti gwonna omuwanvu, na buli bbugwe gwe bakomese.
16 against all the ships of Tarshish and against every magnificent vessel. Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi, n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
17 The arrogance of mankind will be humbled, and the pride of men brought low; our Father alone will be exalted in that day, Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka, n’amalala g’abantu galissibwa; era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
18 and the idols will completely vanish. N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.
19 People will flee into the caves of the rocks and into holes in the ground from the dread of our Father and from the splendor of his majesty, when he rises to shake the earth. Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja, ne mu binnya mu ttaka, nga badduka entiisa n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
20 In that day people will throw away their idols of silver and their idols of gold to the moles and bats, which they made for themselves to worship. Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu, be beekolera nga ba kusinzanga, ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
21 They will go into the clefts of the rocks and into the crevices of the cliffs from the dread of our Father and from the splendor of his majesty, when he rises to shake the earth. Balidduka ne beekukuma mu mpuku ez’amayinja amaatifu nga badduka entiisa n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda, bwaliyimuka okukankanya ensi.
22 Stop trusting in mere man, who has only breath in his nostrils. What good is he? Mulekeraawo okwesiga omuntu alina omukka obukka mu nnyindo ze. Kiki ennyo kyali?
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]