Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The vision of Isaiah son of Amoz concerning Judah and Jerusalem in the days of Uzziah, Jotham, Ahaz, and Hezekiah, kings of Judah. Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
2 Hear, heavens, and listen, earth, for our Heavenly Father has spoken: "Children I reared and brought up, but they have rebelled against me. Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi, kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti, “Nayonsa ne ndera abaana naye ne banjeemera.
3 "The ox knows its owner, and the donkey its master's manger, but Israel does not know, my people do not understand. Ente emanya nannyini yo n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo, naye Isirayiri tammanyi, abantu bange tebantegeera.”
4 Ah, sinful nation, a people weighed down with guilt, offspring of evildoers, children who act corruptly! They have forsaken our Father, they have spurned the Holy One of Israel—our Father—they have turned their backs and walked away. Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi, abantu abajjudde obutali butuukirivu, ezzadde eryabakola ebibi, abaana aboonoonyi! Balese Mukama banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri, basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
5 Why will you be beaten any longer? Why do you keep on rebelling? The whole head is sick, and the whole heart is faint. Lwaki mweyongera okujeema? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Omutwe gwonna mulwadde, n’omutima gwonna gunafuye.
6 From the sole of the foot to the top of the head there is no healthy spot—only wounds, welts, and open sores, not cleaned or bandaged or soothed with oil. Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe temuli bulamu wabula ebiwundu, n’okuzimba, n’amabwa agatiiriika amasira agatanyigibwanga, okusibibwa, wadde okuteekebwako eddagala.
7 Your land is desolate, your cities burned with fire; in your very presence foreigners devour your fields—a desolation, overthrown by strangers. Ensi yammwe esigadde matongo, ebibuga byammwe byokeddwa omuliro, nga nammwe bennyini mulaba. Bannamawanga balidde ensi yammwe, era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
8 And the daughter of Zion is left like a shelter in a vineyard, like a hut in a cucumber field, like a city under siege. Omuwala wa Sayuuni alekeddwa ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu, ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu, ng’ekibuga ekizingiziddwa.
9 If the Father of heaven's armies had not left us a few survivors, we would have become like Sodom, we would have been like Gomorrah. Singa Mukama ow’Eggye teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo twandibadde nga Sodomu, twandifuuse nga Ggomola.
10 Hear the word of our Father, you rulers of Sodom! Listen to the instruction of our Father, you people of Gomorrah! Muwulirize ekigambo kya Katonda mmwe abafuzi ba Sodomu! Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe mmwe abantu b’e Ggomola!
11 What are your endless sacrifices to me?" says our Father. "I have had my fill of burnt offerings of rams and the fat of fattened animals; I take no delight in the blood of bulls and lambs and goats. “Ssaddaaka enkumu ze munsalira zingasa ki? Nkooye endiga ennume enjokye eziweebwayo, so sisanyukira musaayi gwa nte, newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.
12 When you come to appear before me, who asked this of you—this trampling of my courts? Bwe mujja mu maaso gange, ani aba abayise ne mujja okulinnyirira empya zange?
13 Stop bringing meaningless offerings! Your incense is detestable to me. New moons, Sabbaths, the calling of assemblies—I cannot stand wickedness mixed with your solemn gatherings. Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu; obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi. Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe zijjudde obutali butuukirivu.
14 Your new moons and your appointed feasts my soul hates; they have become a burden to me—I am weary of carrying them. Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu, emmeeme yange ebikyaye, binfuukidde omugugu, nkooye okubigumiikiriza.
15 When you stretch out your hands in prayer, I will hide my eyes from you; even when you offer many prayers, I will not be listening. Your hands are full of blood. Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe nnaabakwekanga amaaso gange, era ne bwe munaasabanga ennyo siiwulirenga kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.
16 Wash yourselves; make yourselves clean. Take your evil deeds out of my sight; stop doing wrong. Munaabe, mwetukuze muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi, mulekeraawo okukola ebibi.
17 Learn to do good; seek justice, set the oppressor right. Defend the orphan, stand up for the widow. Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima, mudduukirirenga abajoogebwa, musalenga omusango gw’atalina kitaawe, muwolerezenga bannamwandu.
18 Come now, let us settle this together," says our Father. "Though your sins are like scarlet, they will be as white as snow; though they are red as crimson, they will become like wool. “Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” bw’ayogera Mukama; “ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu binaafuuka byeru ng’omuzira, ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
19 If you are willing and obedient, you will eat the good things of the land; Bwe munaagondanga ne muwulira, munaalyanga ebirungi eby’ensi;
20 but if you refuse and rebel, you will be devoured by the sword. For the mouth of our Father has spoken." naye bwe munaagaananga ne mujeemanga ekitala kinaabalyanga,” kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
21 How the faithful city has become a prostitute! She was once full of justice; righteousness used to dwell in her—but now murderers. Laba ekibuga ekyesigwa bwe kifuuse ng’omwenzi! Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya! Obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22 Your silver has become worthless slag, your choice wine diluted with water. Effeeza yo efuuse masengere, wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23 Your rulers are rebels, partners with thieves; they all love a bribe and chase after gifts. They do not defend the orphan, and the widow gets no hearing from them. Abafuzi bo bajeemu, mikwano gya babbi, bonna bawoomerwa enguzi, era banoonya kuweebwa birabo; tebayamba batalina ba kitaabwe, so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
24 Therefore this is the declaration of the Sovereign Father, the Father of heaven's armies, the Mighty One of Israel—our Father: Ah, I will get relief from my adversaries and bring justice against my foes. Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye, ow’amaanyi owa Isirayiri nti, “Ndifuka obusungu ku balabe bange, era ne nesasuza abo abankyawa.
25 I will turn my hand against you; I will smelt away your slag as with lye and remove all your impurities. Era ndikukwatamu n’omukono gwange, ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
26 I will restore your judges as in days of old, your counselors as at the beginning. Afterward you will be called the City of Righteousness, the Faithful City. Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka. Olwo olyoke oyitibwe ekibuga eky’obutuukirivu, ekibuga ekyesigwa.”
27 Zion will be redeemed by justice, and those in her who repent, by righteousness. Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya, n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.
28 But rebels and sinners will be broken together, and those who forsake our Father will be consumed. Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu, n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.
29 You will be ashamed of the sacred oaks you delighted in; you will blush over the gardens you have chosen. “Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti mwe mwenyumiririzanga, n’olw’ennimiro ze mweroboza.
30 For you will be like an oak whose leaves wither, like a garden without water. Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka era ng’ennimiro etaliimu mazzi.
31 The strong man will become tinder and his work a spark; both will burn together, with no one to put them out. N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi, n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda, era byombi biriggiira wamu so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]