Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 For look—the Father of heaven's armies is about to strip from Jerusalem and from Judah every support and supply: the whole supply of bread and the whole supply of water, Laba kaakano, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza ne kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.
2 the warrior and the soldier, the judge and the prophet, the fortune-teller and the elder, Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira, omulamuzi, ne nnabbi, n’omulaguzi, n’omukadde.
3 the commander of fifty and the man of rank, the counselor, the skilled craftsman, and the clever enchanter. Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano, n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.
4 "I will make mere boys their officials, and childish whim will rule over them. “Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe, n’abaana obwana balibafuga.”
5 The people will oppress one another, each man against his neighbor; the young will rise up against the old, and the lowly against the honored." Era abantu balijooga bannaabwe, buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we. Abato baliyisa mu bakulu amaaso n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.
6 A man will seize his brother in his father's house and say, "You have a coat—you be our leader; take charge of this heap of ruins." Ekiseera kirituuka omusajja agambe muganda we nti, “Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe, n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
7 But on that day he will cry out, "I am no healer! There is no bread and no coat in my house—you will not make me leader of the people." Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti, “Si nze n’aba ow’okubawonya, mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo. Temumpa kukulembera bantu!”
8 For Jerusalem has stumbled and Judah has fallen, because their words and their deeds are against our Father, defying his glorious presence. Kubanga Yerusaalemi kizikiridde ne Yuda agudde! Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda, bityoboola ekitiibwa kye.
9 The look on their faces testifies against them; they flaunt their sin like Sodom—they do not hide it. How terrible for them, for they have brought disaster on themselves! Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu awatali kukweka n’akatono. Zibasanze! Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.
10 Tell the righteous it will go well with them, for they will eat the fruit of their deeds. Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana, kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 How terrible for the wicked! It will go badly for him, for what his hands have done will be repaid to him. Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira! Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
12 My people—children are their oppressors, and women rule over them. My people, your guides lead you astray and have swallowed up the path you should walk. Abantu bange banyigirizibwa abaana abato, abakazi kaakano be babafuga. Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.
13 Our Father takes his stand to bring his case; he rises to judge the peoples. Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga, ayimiridde okusalira abantu be omusango.
14 Our Father enters into judgment with the elders and officials of his people: "It is you who have devoured the vineyard; the plunder of the poor is in your houses. Mukama Katonda asala omusango gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be. “Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu. Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
15 What do you mean by crushing my people and grinding the faces of the poor?" declares the Father of heaven's armies. Lwaki mulinnyirira abantu bange, lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
16 Our Father said: "Because the daughters of Zion are proud—walking with outstretched necks and flirting eyes, mincing along with quick little steps, jingling the anklets on their feet, Mukama Katonda agamba nti, “Abakazi b’omu Sayuuni beemanyi, era batambula balalambazza ensingo nga batunuza bukaba. Batambula basiira nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.
17 therefore the Sovereign Father will strike the heads of the daughters of Zion with scabs, and our Father will lay bare their foreheads." Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni, ne gifuuka gya biwalaata.”
18 On that day the Sovereign Father will strip away their finery: the anklets, the headbands, the crescent ornaments, Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira,
19 the earrings, the bracelets, the veils, ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso,
20 the headdresses, the ankle chains, the sashes, the perfume flasks, the charms, ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato,
21 the signet rings, the nose rings, empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo,
22 the festival robes, the capes, the cloaks, the purses, engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo,
23 the hand mirrors, the fine linen garments, the turbans, and the shawls. n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.
24 Then, instead of perfume there will be a stench; instead of a sash, a rope; instead of elegantly styled hair, baldness; instead of fine robes, a wrapping of coarse cloth; branding instead of beauty. Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu, awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa, n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata, mu kifo ky’engoye babeere mu nziina, n’awaali obulungi waddewo obulambe.
25 Your men will fall by the sword, your warriors in the battle. Abasajja bo balittibwa kitala, abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.
26 Her gates will mourn and lament; stripped bare, she will sit on the ground. N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]