Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 On that day seven women will take hold of one man, saying, "We will eat our own bread and wear our own clothes; only let us be called by your name. Take away our disgrace." Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti, Tuyitibwenga erinnya lyo, otuggyeko ekivume. Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.
2 On that day the Branch of our Father will be beautiful and glorious, and the fruit of the land will be the pride and splendor of the survivors of Israel. Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo.
3 And whoever is left in Zion and remains in Jerusalem will be called holy—everyone recorded for life in Jerusalem, Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi.
4 when the Sovereign Father has washed away the filth of the daughters of Zion and rinsed the bloodstains of Jerusalem from within her by a spirit of judgment and a spirit of burning. Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi.
5 Then our Father will create over the whole site of Mount Zion and over her assemblies a cloud by day and smoke, and a bright, flaming fire by night; for there will be a canopy over all the glory. Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda.
6 It will be a shelter to give shade from the heat by day, and a refuge and hiding place from storm and rain. Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]