Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 4 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

1Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti,Tuyitibwenga erinnya lyo,otuggyeko ekivume.Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.

Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya

2Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. 3Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. 4Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. 5Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. 6Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]