Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Psalms 21 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!

2Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.

3Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.

4Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.

5Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.

6Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.

7Kubanga kabaka yeesiga Mukama,era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

8Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.

9Bw’olirabika, Ayi Mukama,olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,era alibamalirawo ddala.

10Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.

11Newaakubadde nga bakusalira enkwe,ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.

12Balikyuka ne bakudduka bwe balirabang’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.

13Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]