Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Wisdom has built her house; she has hewn out her seven pillars. Amagezi gazimbye ennyumba yaago, gagizimbidde ku mpagi musanvu.
2 She has slaughtered her animals; she has mixed her wine; she has also set her table. Gategese ennyama yaago ne wayini waago; gategese ekijjulo.
3 She has sent out her young women to call from the highest places of the town: Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere mu bifo ebigulumivu nti,
4 "Whoever is simple, let him come in here!" To the one who lacks sense she says, “Buli atalina kutegeera akyameko wano!” Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
5 "Come, eat my bread and drink the wine I have mixed. “Mujje mulye ku mmere yange era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
6 Leave your simple ways, and live; walk in the way of insight." Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu, era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”
7 Whoever corrects a mocker brings abuse on himself, and whoever rebukes a wicked man gets hurt. Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa, n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
8 Do not rebuke a mocker, or he will hate you; rebuke a wise man, and he will love you. Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
9 Instruct a wise man and he will grow wiser; teach a righteous man and he will learn even more. Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi, yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.
10 The fear of our Father is the beginning of wisdom, and the knowledge of the Holy One is insight. “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
11 For by me your days will be multiplied, and years will be added to your life. Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo, era olyongerwako emyaka.
12 If you are wise, you are wise for yourself; if you scoff, you alone will bear it. Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba, naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”
13 The woman Folly is loud; she is naive and knows nothing. Omukazi omusirusiru aleekaana, taba na mpisa era taba na magezi!
14 She sits at the door of her house, on a seat at the highest places of the town, Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye, ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,
15 calling to those who pass by, who are going straight on their way: ng’akoowoola abo abayitawo, ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.
16 "Whoever is simple, let him come in here!" And to the one who lacks sense she says, Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.” Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,
17 "Stolen water is sweet, and bread eaten in secret is pleasant." “Amazzi amabbe nga gawooma! emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”
18 But he does not know that the dead are there, that her guests are in the depths of the grave. Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira, era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]