Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The proverbs of Solomon: A wise son brings joy to his father, but a foolish son brings grief to his mother. Engero za Sulemaani: Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe; naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
2 Treasures gained by wickedness do not profit, but righteousness rescues from death. Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa, naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.
3 Our Father will not let the righteous go hungry, but he thwarts the craving of the wicked. Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala, naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.
4 Lazy hands make you poor, but diligent hands bring wealth. Emikono emigayaavu gyavuwaza, naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.
5 He who gathers in summer is a prudent son, but he who sleeps during harvest is a son who brings shame. Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu, naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.
6 Blessings rest on the head of the righteous, but the mouth of the wicked conceals violence. Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu, naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.
7 The memory of the righteous is a blessing, but the name of the wicked will rot. Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu, naye erinnya ly’omubi linaavundanga.
8 A wise heart accepts commands, but a babbling fool comes to ruin. Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro, naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.
9 Whoever walks in integrity walks securely, but he who makes his ways crooked will be found out. Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe, naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.
10 Whoever winks causes trouble, and a babbling fool comes to ruin. Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku, n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.
11 The mouth of the righteous is a fountain of life, but the mouth of the wicked conceals violence. Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu, naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.
12 Hatred stirs up conflict, but love covers all offenses. Obukyayi buleeta enjawukana, naye okwagala kubikka ku bibi bingi.
13 On the lips of the discerning, wisdom is found, but a rod is for the back of one who lacks sense. Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera, naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.
14 The wise store up knowledge, but the mouth of a fool invites ruin. Abantu ab’amagezi batereka okumanya, naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.
15 The wealth of the rich is their fortified city; the ruin of the poor is their poverty. Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo, naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.
16 The wage of the righteous leads to life; the gain of the wicked leads to sin. Empeera y’omutuukirivu bulamu, naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.
17 Whoever accepts discipline is on the path to life, but he who ignores correction leads others astray. Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu, naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.
18 Whoever conceals hatred is a liar, and whoever spreads slander is a fool. Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba, era omuntu akonjera, musirusiru.
19 Where words are many, sin is never absent; but whoever holds his tongue is wise. Mu bigambo ebingi temubula kwonoona, naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.
20 The tongue of the righteous is choice silver; the heart of the wicked is worth little. Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo, naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.
21 The lips of the righteous nourish many, but fools die for lack of sense. Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi, naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.
22 The blessing of our Father brings wealth, and he adds no sorrow with it. Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga era tagwongerako buyinike.
23 Doing wickedness is a game to a fool, but wisdom is the delight of a person of understanding. Omusirusiru asanyukira okukola ebibi, naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.
24 What the wicked dreads will come upon him, but the desire of the righteous will be granted. Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako, naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.
25 When the storm has passed, the wicked are gone, but the righteous are established forever. Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa, naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.
26 Like vinegar to the teeth and smoke to the eyes, so is the sluggard to those who send him. Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso, n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.
27 The fear of our Father lengthens life, but the years of the wicked will be cut short. Okutya Mukama kuwangaaza omuntu, naye emyaka gy’ababi girisalibwako.
28 The hope of the righteous brings joy, but the expectation of the wicked will perish. Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu, naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.
29 The way of our Father is a refuge for the blameless, but ruin for those who do evil. Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.
30 The righteous will never be shaken, but the wicked will not remain in the land. Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna, naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.
31 The mouth of the righteous yields wisdom, but the perverse tongue will be cut off. Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi, naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.
32 The lips of the righteous know what is acceptable, but the mouth of the wicked, only what is perverse. Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde; naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]