Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Does not Wisdom call out, and understanding raise her voice? Amagezi tegakoowoolera waggulu, n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
2 Atop the heights along the way, where the paths meet, she takes her stand. Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo, mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
3 Beside the gates, at the entrance to the city, at the doorways she cries aloud: ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga, ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
4 "To you, all people, I call out; my voice reaches all humanity. Mmwe abantu, mmwe b’empita; nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
5 You who are simple, learn prudence; you who are foolish, gain an understanding heart. Mmwe abatategeera mufune okutegeera; nammwe abasirusiru mufune amagezi.
6 Listen, for I speak of noble things, and everything I say is right. Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba, era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
7 My mouth utters truth, for my lips detest wickedness. Akamwa kange koogera bituufu byereere; kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
8 All the words of my mouth are righteous; none of them is twisted or crooked. Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
9 To the one who understands they are all clear, and right to those who find knowledge. Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera, era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
10 Take my instruction instead of silver, and knowledge rather than choice gold, Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange, era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
11 for wisdom is better than jewels, and nothing you desire can compare with her. kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi, era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.
12 I, Wisdom, dwell with prudence, and I find knowledge and discretion. Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi, era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 The fear of our Father is to hate evil. Pride and arrogance, the evil way, and perverse speech I hate. Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala n’okwemanya, n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 Counsel is mine, and sound wisdom; I am understanding; strength is mine. Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange; ntegeera era ndi wa buyinza.
15 By me kings reign, and rulers decree what is just; Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga, abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
16 by me princes govern, and nobles—all who rule with justice. Abalangira bafuga ku bwange, n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
17 I love those who love me, and those who search for me find me. Njagala abo abanjagala, n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
18 With me are riches and honor, enduring wealth and righteousness. Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze, obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
19 My fruit is better than gold, than the finest gold, and what I yield surpasses choice silver. Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose, n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
20 I walk in the way of righteousness, along the paths of justice, Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu, mu kkubo ery’obwenkanya,
21 giving wealth as an inheritance to those who love me, and filling their treasuries. n’abo abanjagala mbagaggawaza era nzijuza amawanika gaabwe.
22 Our Father brought me forth at the beginning of his way, before his works of old. Mukama nze gwe yasooka okwoleka nga tannabaako kirala ky’akola.
23 From ages past I was established, from the beginning, before the earth began. Nateekebwawo dda nnyo, ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
24 When there were no deep waters I was brought forth, when there were no springs overflowing with water. Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo, nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,
25 Before the mountains were settled, before the hills, I was brought forth, ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo, nga n’obusozi tebunnabaawo;
26 while he had not yet made the earth and its fields, or the first dust of the world. nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo, wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.
27 When he set the heavens in place, I was there; when he drew a circle over the face of the deep, Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo, ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,
28 when he set the skies in place above, when he established the springs of the deep, ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga, n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,
29 when he set for the sea its boundary so the waters would not cross their limits, when he marked out the foundations of the earth, bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma, amazzi galeme kusukka we yagalagira, ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
30 then I was beside him as a master craftsman, and I was his daily delight, rejoicing before him always, Nnali naye ng’omukozi omukugu, nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku, nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,
31 rejoicing in his whole world, and delighting in the human family. nga nsanyukira mu nsi ye yonna, era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.
32 And now, my children, listen to me: blessed are those who keep my ways. Kale nno, batabani bange mumpulirize; balina omukisa abo abakwata amakubo gange!
33 Listen to instruction and be wise; do not ignore it. Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi, so temugalekanga.
34 Blessed is the one who listens to me, watching daily at my gates, waiting beside my doorway. Alina omukisa omuntu ampuliriza, alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange buli lunaku.
35 For whoever finds me finds life and receives favor from our Father. Kubanga buli andaba afuna obulamu, era afuna okuganja eri Mukama.
36 But whoever misses me harms his own soul; all who hate me love death." Oyo atannoonya yeerumya yekka, era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]