Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 9 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Empagi z’Amagezi Omusanvu

1Amagezi gazimbye ennyumba yaago,gagizimbidde ku mpagi musanvu.

2Gategese ennyama yaago ne wayini waago;gategese ekijjulo.

3Gatumye abawala abaweereza bakoowooleremu bifo ebigulumivu nti,

4“Buli atalina kutegeera akyameko wano!”Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,

5“Mujje mulye ku mmere yangeera munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.

6Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”

7Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa,n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.

8Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, nayenenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.

9Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi,yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.

10“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

11Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo,era olyongerwako emyaka.

12Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba,naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”

13Omukazi omusirusiru aleekaana,taba na mpisa era taba na magezi!

14Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye,ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,

15ng’akoowoola abo abayitawo,ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.

16Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.”Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,

17“Amazzi amabbe nga gawooma!emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”

18Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira,era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]