Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 My son, pay attention to my wisdom; listen closely to my understanding, Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange, era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
2 so that you may guard discretion and your lips may preserve knowledge. olyoke oyige okusalawo okw’amagezi, era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
3 For the lips of the forbidden woman drip honey, and her mouth is smoother than oil, Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki, n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
4 but in the end she is bitter as poison, sharp as a double-edged sword. naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
5 Her feet go down to death; her steps take hold of the grave. Ebigere bye bituuka mu kufa, ebisinde bye biraga emagombe.
6 She gives no thought to the path of life; her ways wander, and she does not know it. Tafaayo ku kkubo lya bulamu, amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.
7 And now, my sons, listen to me, and do not turn away from the words of my mouth. Kaakano, batabani bange mumpulirize, temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.
8 Keep your way far from her, and do not go near the door of her house, Mwewalenga omukazi oyo era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;
9 lest you give your honor to others and your years to one who is cruel, si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe, n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
10 lest strangers take their fill of your strength, and your hard-earned labors go to the house of a foreigner, ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza, n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.
11 and at your end you groan, when your flesh and body are consumed, Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda, ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.
12 and you say, "How I hated discipline, and my heart despised correction! Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa, n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,
13 I did not listen to the voice of my teachers or heed my instructors. era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange, wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
14 I was at the brink of utter ruin in the midst of the assembled congregation." Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”
15 Drink water from your own cistern, flowing water from your own well. Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo, n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
16 Should your springs overflow in the streets, your streams of water in the public squares? Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo, n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
17 Let them be yours alone, and not shared with strangers. Leka bibeere bibyo wekka, bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
18 May your fountain be blessed, and rejoice in the wife of your youth, Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa, era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
19 a loving doe, a graceful deer. May her love satisfy you always; may you be captivated continually by her love. Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa, leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
20 Why then, my son, should you be captivated by a forbidden woman and embrace another man's wife? Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi, n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?
21 For a man's ways are before the eyes of our Father, and he examines all the man's paths. Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna, era n’akebera n’amakubo ge gonna.
22 The wicked are caught by their own wrongdoing and held fast in the cords of their sin. Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego, era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.
23 He will die for lack of discipline, and he will go astray because of his great foolishness. Alifa, kubanga yagaana okwekuuma, era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]