Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 My son, if you have put up security for your neighbor, if you have shaken hands in pledge for a stranger, Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo, ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
2 you have been snared by the words of your mouth, caught by the words of your mouth. Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera, ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,
3 Then do this, my son, and free yourself, for you are now at your neighbor's mercy: go, humble yourself, and plead with your neighbor. kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya, kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo: Yanguwa, ogende weetoowaze, weegayirire muliraanwa wo.
4 Give no sleep to your eyes, no slumber to your eyelids. Amaaso go togaganya kwebaka, wadde ebikowe byo okubongoota.
5 Free yourself like a gazelle from the hand, like a bird from the hand of the trapper. Onunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi, era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.
6 Go to the ant, you sluggard; consider her ways and be wise. Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe; fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
7 Without having any chief, officer, or ruler, Tebirina mukulembeze, mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
8 she prepares her bread in summer and gathers her food in harvest. kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula, ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.
9 How long will you lie there, sluggard? When will you arise from your sleep? Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe? Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 A little sleep, a little slumber, a little folding of the hands to rest, Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono, n’okufunya emikono okuwummulako,
11 and poverty will come upon you like a robber, and scarcity like an armed man. obwavu bulikutuukako ng’omutemu, era n’obwetaavu ng’omutemu.
12 A worthless person, a wicked man, goes about with crooked speech, Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
13 winks with his eyes, signals with his feet, points with his fingers, agenda atemyatemya ku liiso, nga bw’akuba ebigere ate nga bw’asongasonga olunwe,
14 with perverted heart he devises evil, continually sowing discord; olw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi, bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
15 therefore calamity will come upon him suddenly; in a moment he will be broken beyond healing. Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo, mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.
16 There are six things our Father hates, seven that are detestable to him: Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa, weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.
17 haughty eyes, a lying tongue, and hands that shed innocent blood, Amaaso ag’amalala, emimwa egirimba, okuttira abantu obwereere;
18 a heart that devises wicked plans, feet that hurry to run to evil, omutima ogutegeka okukola ebibi, ebigere ebyanguwa okukola ebibi,
19 a false witness who breathes out lies, and one who sows discord among brothers. obujulizi obw’obulimba, n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.
20 My son, keep your father's commandment, and do not forsake your mother's teaching. Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo, era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21 Bind them on your heart always; tie them around your neck. Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22 When you walk, they will lead you; when you lie down, they will watch over you; and when you awake, they will talk with you. Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga, ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga, ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23 For the commandment is a lamp and the teaching a light, and the reproofs of discipline are the way of life, Kubanga amateeka ttabaaza, era n’okuyigiriza kitangaala, okukulabula olw’okukuluŋŋamya, ly’ekkubo ery’obulamu,
24 to keep you from the evil woman, from the smooth tongue of the adulteress. okukuwonya omukazi ow’ebibi, okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25 Do not desire her beauty in your heart, and do not let her capture you with her eyelashes; Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo, wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26 for the price of a prostitute is only a loaf of bread, but a married woman hunts down a precious life. kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati, era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27 Can a man carry fire next to his chest and his clothes not be burned? Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, ebyambalo bye ne bitaggya?
28 Or can one walk on hot coals and his feet not be scorched? Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, ebigere bye ne bitasiriira?
29 So is he who sleeps with his neighbor's wife; none who touches her will go unpunished. Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we, buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.
30 People do not despise a thief if he steals to satisfy his appetite when he is hungry, Abantu tebasekerera muntu bw’abba, olw’okwewonya enjala.
31 but if he is caught, he will pay sevenfold; he will give all the goods of his house. Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu; ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
32 He who commits adultery lacks sense; he who does it destroys himself. Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi; kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
33 He will get wounds and dishonor, and his disgrace will not be wiped away. Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa; n’obuswavu tebulimusangulibwako.
34 For jealousy makes a man furious, and he will show no mercy in the day of vengeance. Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira, era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.
35 He will accept no compensation; he will refuse no matter how large the bribe. Talikkiriza mutango gwonna, wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]