Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 5 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Okulabula ku Bwenzi

1Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange,era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,

2olyoke oyige okusalawo okw’amagezi,era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.

3Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;

4naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususaera asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.

5Ebigere bye bituuka mu kufa,ebisinde bye biraga emagombe.

6Tafaayo ku kkubo lya bulamu,amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

7Kaakano, batabani bange mumpulirize,temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.

8Mwewalenga omukazi oyoera temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;

9si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,

10ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.

11Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.

12Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa,n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,

13era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.

14Ntuuse ku njegoyego z’okuzikiriranga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”

Obuvunaanyizibwa n’Essanyu mu Bufumbo

15Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo,n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.

16Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo,n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?

17Leka bibeere bibyo wekka,bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.

18Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.

19Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.

20Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?

21Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna,era n’akebera n’amakubo ge gonna.

22Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego,era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.

23Alifa, kubanga yagaana okwekuuma,era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]