Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Proverbs 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Listen, my children, to a father's instruction; pay attention, and gain understanding. Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe, era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
2 I am giving you sound teaching, so do not abandon my instruction. Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi; temulekanga biragiro byange.
3 For I too was a son to my father, tender and the only beloved of my mother. Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange, omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
4 He taught me and said, "Let your heart hold on to my words; keep my commands and you will live. yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo, kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
5 Get wisdom, get understanding; do not forget, and do not turn away from the words of my mouth. Funa amagezi; funa okutegeera, teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
6 Do not forsake her, and she will protect you; love her, and she will watch over you. Togalekanga, nago ganaakukuumanga, gaagale nago ganaakulabiriranga.
7 The beginning of wisdom is this: get wisdom; and with all you acquire, get understanding. Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
8 Cherish her, and she will lift you high; embrace her, and she will bring you honor. Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa, gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
9 She will set a garland of grace on your head; she will present you with a crown of glory." Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa, era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”
10 Listen, my son, and receive my words, and the years of your life will be many. Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
11 I have taught you the way of wisdom; I have led you along straight paths. Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi, ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
12 When you walk, your steps will not be held back; and when you run, you will not stumble. Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa; era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
13 Hold on to instruction, do not let go; guard her, for she is your life. Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga: kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14 Do not set foot on the path of the wicked, and do not walk in the way of evildoers. Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi, wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
15 Avoid it, do not travel on it; turn away from it and pass on by. Lyewalenga, tolitambulirangamu, liveeko okwate ekkubo lyo.
16 For they cannot sleep unless they do wrong; they are robbed of rest unless they make someone stumble. Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi, era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17 They feed on the bread of wickedness and drink the wine of violence. Okukola ebibi y’emmere yaabwe, n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.
18 But the path of the righteous is like the light of dawn, shining brighter and brighter until the full light of day. Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo, eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19 The way of the wicked is like deep darkness; they do not know what makes them stumble. Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte, tebamanyi kibaleetera kwesittala.
20 My son, pay attention to my words; listen closely to my sayings. Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange; osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21 Never lose sight of them; keep them deep within your heart. ebigambo bino tebikuvangako, bikuumire ddala mu mutima gwo,
22 For they are life to those who find them, and healing to their whole body. kubanga bya bulamu eri abo ababifuna, era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23 Above all else, guard your heart, for everything you do flows from it. Ekisinga byonna kuuma omutima gwo, kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24 Keep crooked speech from your mouth, and keep deceitful lips far from you. Weewalire ddala eby’obubambavu era n’okwogera ebya swakaba.
25 Let your eyes look straight ahead; fix your gaze directly before you. Amaaso go gatunulenga butereevu, era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26 Give careful thought to the path for your feet, and all your ways will be secure. Ttereeza bulungi amakubo go; okwate amakubo ageesigika gokka.
27 Do not turn to the right or the left; keep your foot away from evil. Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono; ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]